16 be baakafiira mu kwekalakaasa e Kenya

ABANTU abasukka 16 be baakafiira mu kwekalakaasa e Kenya ng’abavubuka bawakanya obufuzi obubi n’okutulugunyizibwa poliisi.

Abaserikale ba poliisi ya Kenya nga bagezaako okukkakkanya bannansi ba Kenya naddala abavubuka abaabadde beekalakaasa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU abasukka 16 be baakafiira mu kwekalakaasa e Kenya ng’abavubuka bawakanya obufuzi obubi n’okutulugunyizibwa poliisi.
Okwekalakaasa kwatandise ku Lwokusatu, nga kwetabyemu enkumi n’enkumi z’abavubuka abatambula nga boolekera ekibuga ekikulu eky’e Nairobi.
Kwakwataganye nga guweze omwaka mulamba bukya Bannakenya beeyiwa ku nguudo ne beekalakaasa nga bawakanya okulinnyisa emisolo ekyavaako abantu 60 okuttibwa.
Okusooka waabaddewo enkung’aana ezaasoose okukubibwa ng’abantu baagala okunnyonnyolwa lwaki ‘blogger’ we Kenya eyakwatibwa yafiiridde mu kkomera.
Gavumenti ya Kenya yaweze ebitongole by’amawulire byonna okuddamu okuweereza obutereevu ebikwata ku kwekalakaasa. Ekiragiro kya kkooti kyayimirizza mbagirawo okuweereza okwekalakaasa.
Kyokka abantu baasazeewo okweyambisa emukitu gya social media kwe bateeka ebifaananyebiraga buli ekigenda mu maaso wakati mu kusaba Pulezidenti William Ruto alekulire.
Naye Ruto yabaanukudde n’agamba nti, si mwetegefu kukkiriza beekalakaasa kusaanyawo nsi ng’alaba n’alabula nga bwe bagenda okukozesa omukono ogw’ekyuma.
Waliwo abantu abaalabiddwa nga bawa abeekalakaasi amazzi ku nguudo nga bwe babakakasa nti, bali bumu.
Wiiki ewedde waliwo omutembeeyi eyattibwa mu kwekalakaasa era kkooti n’ewa ebitongole ebinoonyereza ennaku 15 bazuule abaali emabega w’ettemu lino era bavunaanibwe.
Abavubuka abeeyita Gen Z baasokera ku mikutu gya social media kwe baateeka obubaka nga bajjukira bannaabwe abattibwa omwaka oguwedde. Pulezidenti Ruto yeetonda era n’asuubiza okukomya ebikolwa bya poliisi ebyokutulugunya abantu era n’agikulira n’alekulira