Bya Frank Ssentongo
Minista wa‘Local Government’ Rafael Magyezi; Alambuludde nti mu lutuula lwa govumenti ku state house; President Museveni yakiriza budget ya obuwumbi 56.946 okuyambako eby’okulonda abakulembeze b’okubyalo okusuubirwa okubaawo wakati wa March ne April okwetoloola eggwanga lyonna.
Minister Magyezi agmbye nti ebisanja bya bakulembeze b’okuyalo byali byaggwako nga ennaku z’omwezi 2nd July 2023; era babadde bongezayo ebisanja by’abakulembeze emirundi egy’omuddiringanwa 6.
Minister alambudude nti; okulonda kuno kwakutambulira wamu n’okulonda kw’abwkulembeze abalala era nti kwakubaawoku ntadikwa ya May nga Pulezidenti we gwanga omugya tanalayizibwa oba okutuuzibwa ku ntebe.
Minister ategeezezza banamawulire nti ekitongole ky'ebyokulonda kyasabidwa kikole entekakateeka zaakyo okusobola okulondesa abantu okwetolola egwanga lyonna