Bya Wasswa B. Ssentongo
TAATA w'omuyimbi Jose Chameleone, Gerald Mayanja addukiridde omukyala eyazaala omwana we atalina maaso n’asaba n’abalala okuvaayo okulaba nga badduukirira omukyala ono.
Mzee Mayanja adduukiridde Irene Namata ku kyalo ky’e Namaliga e Bombo ng’ ono yazaala omwan,a Jonah Kazibwe 7 nga talina maaso.
Mayanja amudduukiridde n'ebintu ebikozesebwa awaka okuli; ssukaali, Omuccere ssabbuni n’ebirala.
Ono ategeezezza ng’ ayagala kulaba nga waakiri asoma kuba ye amulaba nga singa asoma ebiseera bye eby'omu maaso biba bitangaavu nnyo.
Namata yeebazizza Mzee Mayanja n’agamba nti omwana ono abeewaabwe bamwegaana nga talina mulimu gonna gw’asobola kukola kuba talina gwalekera mwana we.