Chameleone nga mu kiseera kino yatwaliddwa mu America okwongera okwekebejjebwa, abasawo baasoose kumuzuulamu obulwadde obulala bwa mirundi ebiri ng’oggyeeko obw’akataago obwamuweesa ekitanda e Nakasero.
Chameleone yasimbudde eggulo (Mmande) nga yawerekeddwaako muto we, Weasel era nga mu America asuubirwa okumalayo ebbanga eritakka wansi wa myezi 6.
Ku Ssande akawungeezi, yasabye abasawo ne bamukkiriza okugendako ewuwe e Lubowa n’abaako ebintu by’aggyayo bye yagenze nabyo, era oluvannyuma yakomyewo mu ddwaaliro gya yavudde eggulo okugenda ku kisaawe e Ntebe.
Chameleone amaze ku kitanda ennaku 10 ng’abadde ajjanjabibwa abasawo abakugu okuli n’omusawo wa Pulezidenti Museveni ayitibwa Joseph Okia. Pulezidenti ye yalagira omusawo we agattibwe ku ttiimu ejjanjaba omuyimbi ono okukakasa nti afuna ekyo ekisingayo.
Okutwalibwa e Nakasero, yali amaze ennaku eziwera ng’alumizibwa mu lubuto n’omusujja omungi, era baasooka kumujjanjabira mu ddwaaliro lya Doctor’s Hospital e Seguku wabula nga tawona.
Dr. Okia yasooka kusemba Chameleone aleme kutwalibwa mu America ng’agamba nti embeera ye teyali nnungi naddala ng’atawaanyizibwa okussa.
Yagattako nti alina obulwadde bwa mirundi esatu obulina okukolwako abakugu ab’enjawulo basatu ng’agamba nti kiyinza okuba ekizibu bonna okubafuna ebweru, sso nga e Nakasero bonna weebali.
Ensonda zaategeezezza nti obulwadde obulala obutawaanya Chameleone bukwatagana n’obusomyo era ng'abakugu e Nakasero babadde bamujjanjaba.
Ku Ssande abantu ab’enjawulo baagenzeeyo okumulaba okwabadde Minisita Evelyn Anite n’omuyimbi Omunigeria Rude Boy n’abalala. Bbiiru y’eddwaaliro e Nakasero yonna Gavumenti yagisabye era nga bagenda kugisasula.
Olugendo lwa Chameleone ne Weasel lwasasuliddwa Omusama Juliet Zawedde era tikiti zombi doola 8,000.
Chameleone yagendedde mu kifo ky’abakungu era ng'eyiye yaguze doola 6,000 (mu za Uganda 22,200,000/-) ate eya Weasel yaguliddwa doola 2000 (mu za Uganda 7,400,000/- ).
Zawedde yasoose kukkaanya na Chameleone ne bazadde be, Gerald Mayanja ne Prossy Mayanja ne basemba agende afune obujjanjabi obusingako asobole okussuuka obulungi.