Bassereebu abaafuna mmotoka za gavumenti

19th March 2025

OLUVANNYUMA lw’omuyimbi Kusasira okutunda emmotoka Gavumenti gye yamuwa ne bimutabukako, tulondodde bassereebu abalala abafunye mmotoka za Gavumenti ne kye ziriko.

Bassereebu abaafuna mmotoka za gavumenti
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Mmotoka #Bbanja

OLUVANNYUMA lw’omuyimbi Kusasira okutunda emmotoka Gavumenti gye yamuwa ne bimutabukako, tulondodde bassereebu abalala abafunye mmotoka za Gavumenti ne kye ziriko.

Eggulo Bukedde yalaze Catherine Kusasira ng’alaajana olw’ebbanja lya bukadde 200 ezimubanjibwa be yaguza mmotoka Toyota Land Cruiser GX V8 modulo 2020, nnamba UBF 610S n’ebalemerera okutunda kubanga ya Gavumenti.

Eya Basajja Mivule Bw'efaanana.

Eya Basajja Mivule Bw'efaanana.

Baagala Kusasira abaddize ssente kyokka agamba tazirina. Wano we tusinzidde okunoonya bassereebu abalala abazze bafuna emmotoka ekika kino n’endala okuva mu Gavumenti.

BEBE COOL: Amannya ge ye Moses Ssali. Pulezidenti Museveni yamuwa mmotoka Land Cruiser V8 emuyambeko ng’akola emirimu gye.

Bebecool

Bebecool

Bebe y’omu ku bawagizi ba NRM lukulwe ne mu kampeyini omubiri aguyiwawo n’omutima gumu alina ne lw’afuuka ng’omwogezi w’ekibiina ekyo. Wadde abamu bakaaba nga bw’olaba Kusasira eyategeeza nti amafuta gaayo tagasobola, Bebe muyiiya nnyo era emmotoka eyo akyagirina. Alina n’endala okuli Land Cruiser eteyitamu masasi.

RONALD MAYINJA: Mu 2020, Pulezidenti yawa Mayinja mmotoka Land Cruiser V8 mpya ttuku kyokka olwafunamu ebizibu n’agiguza minisita Balaam Barugahara obukadde 150 n’amuweerako n’endala ekika kya pick up nga z’amuwadde tezimala. Mmotoka ekika ekyo mu budde obwo zaali za bukadde 350 okudda waggulu.

Ronald Mayinja

Ronald Mayinja

Bukedde bwe yatuukiridde Balaam yategeezezza nti, kyamwewuunyisa Mayinja bwe yategeeza Museveni nga bwe yali takola bulungi mirimu gye olw’okuba Balaam yamuggyako emmotoka eyo. Kyokka Balaam yagasseeko nti Pulezidenti yalagira abeebyokwerinda banoonyereze ekituufu ne bazuula nti Mayinja yagimuguza buguza.

Pulezidenti yaddiza Balaam ssente ze n’alagira ne ye pick up ye bagimuddize olwo mmotoka ne bagiddiza Mayinja.

Mayinja essaawa eno alina mmotoka endala Land Cruiser gy’atambuliramu wadde ya mwaka mukadde ku gye baamuwa. Bwe yatuukiriddwa okwogera ku mmotoka eno, Mayinja yabuuzizza omusasi ono nti, lwaki alondoola ebintu ebitalina makulu!

FULL FIGURE: Pulezidenti yalagira mu 2020, Full Figure eyali amukyalidde mu maka g’e Nakasero aweebwe emmotoka.

Baamuwa Mitsubishi Pajero empya ttuku era yasooka kugivuga nga n’obuveera tabuggye ku mitto gyayo nga bw’agenda ayeeya abaali bamuyeeya nti alemedde ku kamotoka ka Noah ke yasooka okuvuga.

Full Figure

Full Figure

Yagiteekako ne bendera y’eggwanga nga bw’oba ogirabye ku kkubo oyinza okulowooza minisita y’atambuliramu. Mmotoka eno wabula Full Figure takyabeera nayo asinga kutambulira mu Noah. Bw’omubuuza akukuba liiso n’asirika.

BASAJJAMIVULE: Omu ku baali abantu ba Bobi Wine bwe yasala eddiiro n’ategeeza bwe yali omwetegefu okukola ne Pulezidenti, yaweebwa mmotoka okumuyambako mu mirimu gye. Yamuwa Toyota Hilux Double Cabin kyokka naye ennaku zino atambulira mu mmotoka ndala.

JOSE CHAMELEONE: Muto wa Pulezidenti Museveni ayitibwa Michael Nuwagira yamutonera Range Rover mpya n’afukamira ne yeebaza ekyayogeza abantu ebingi nti lwaki afukamidde n’abaddamu nti, yabadde alaga ssanyu lye. Ono akyagirina era ne lwe yakuba owa boda kibooko eyali agikalabudde, yeeyo yennyini gye yalimu.

KAYIBANDA: Godfrey Sseguya eyakazibwako erya Kayibanda naye Gavumenti yamuwa mmotoka Pick up Double Cabin mpya. Yagwa ku kabenje ng’ali mu mmotoka eno. Yafunawo endala gy’atambuliramu.

FIINA MUGERWA: Yaweebwa Land Cruiser TX lwa kukola mirimu bulungi ate nga mukunzi mulungi.

EDDY KENZO: Ono alina Land Cruiser V8. Buli amulaba alowooza nti Gavumenti ye yagimuwa kyokka alina lwe yagamba nti ssente za ntuuyo ze.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.