OMUSAMA Juliet Zawedde avudde mu mbeera n’alaga obutali bumativu eri abantu b’azze ayamba kyokka ne batamusiima.
Bino w’abyogeredde ng’abayimbi Jose Chameleone ( Joseph Mayanja) ne muto we Weasel (Douglas Mayanja) bali mu mak ge mu America gye yabatwala mu
December w’omwaka oguwedde.
Mu katambi akaasaasaanidde emitimbagano, Zawedde yeemulugunya olw’abantu b’azze ayamba obutamusiima ne batuuka n’okukola ebitagasa ate ne bamuvumaganya
mu bantu.
Yatuuse n’okutegeeza nti talina ky’abeetaagako kuba ye mukazi mugagga, buli kimu akirina era akolera Gavumenti ya America.
Nti okusalawo okuyamba, akikola lwa mutima mulungi gw’alina. Akatambi kano Zawedde yakafulumizza oluvannyuma lw’akaasoose okufuluma nga kalaga Weasel nga yeecanga ng’alaga nga bw’akooye okutulugunyizibwa n’agattako nga bw’ayagala okukomawo ku butaka kuba yeetamiddwa. Kigambibwa nti bino byonna
okubaawo, Weasel yagenzeeko awutu ne mikwano gye, eyo gye
yavudde nagyo n’agireeta ewa awedde.
Nti olwatuuse awaka ne batandika okukuba embeekuulo nga badigida ekyazuukusizza abaana ba Zawedde abaabadde beebase, ne bakubira kitaabwe essimu olwa kkerere eyabadde asusse.
Kitaabwe ye yakubidde Juliet Zawedde ataabadde waka (yabadde mu kibuga Miami ne Jose Chameleone) ng’amwebuuzaako ekyabadde kigenda mu maaso. Akatambi akalala
akaasaasaanye kalaga Weasel ng’ali mu nnyumba awali pool table ng’alina omusajja n’omukazi b’azannya nabo, era atuuka ekiseera n’awa omukazi haaga ne bagenda mu maaso n’okudigida.
Kigambibwa nti Zawedde bwe yatagedde ttabbulu eyabadde ewuwe, kwe kunenya Weasel olw’okweyisa bwatyo n’atuuka ’okukyaza abantu b’atamanyi mu
maka ge awali n’abaana be nga tasoose kumutegeezaako. Kino Weasel yakirabye nga
okumumalako emirembe era akatambi kalaga ng’alagira mikwano gye bave awaka wa
Zawedde n’agattako n’okutiisatiisa nga bw’ajja okuleekaana olw’okumulemesa okwetaaya.
LWAKI WEASEL AKOOYE AMERICA
Ekimu ku bintu Weasel by‘agambaebimukooyezza America kwe kuba nga teyeetaaya nga bwe yandiyagadde, sso ng’atandise n’okutya nti ebbanga ery’emyezi ebirim gy’amaze mu America, mukazi we Sandra Teta abasajja b’e Kampala bayinza okumusigula.
Ekirala, yagambye nti aludde okulaba ku baana be nga basiiba bamukubira essimu nga
bamubuuza ddi lw’anaakomawo.
Eky’obutamukkiriza kumala gakyazakyaza mikwano gye mu maka ga Zawedde nakyo alaga nti kimukooyezza ng’ayagala obulamu bwe yamanyiira okukyaza nga bw’ayagadde.
Agamba nti wadde mu America, obulamu butambula bulungi era bamulabirira, alina ebyetaago by’awaka we naddala ssente z’atalina kuba takola. Agamba nti engatto n’engoye bye bamugulira singa waakiri bamuwaamu ssente n’aziwereeza mukyala we n’abaana abali e Kampala, oba n’aguliramu mukyala we emmotoka mu kifo ky’okwonoonera ssente mu bya malidaadi.
CHAMELEONE BY’AGAMBA
Chameleone yasoose kwebaz muto we Weasel olw’okumubeererawo. Yagambye
nti Weasel okwerekereza emirimu gye yalina mu biseera bya Ssekukkulu n’okuyingira omwaka we baagendera mu America kyali kikolwa kya buzira era tamubanja. Yagasseeko nti Weasel ayagala
kubeera na amire ye era abadde akimugamba bulijjo era nti kigenda kukolebwako akomewo e Kampala.
WEASEL YEETONDEDDE ZAWEDDE Oluvannyuma lwa Weasel okwecangira ewa Zawedde, oluvannyuma yamwetondedde n’asaba amusonyiwe kuba teyagenderedde
kweyisa mu mbeera bw’eti. Bino era baabitadde ku katambi akalaga nga batudde bombi nga Zawedde aliko emirimu gy’akola, olwo Weasel n’amusaba amusonyiwe
olw’embeera gye yamuyisizzaamu nti yabadde takigenderedde kuba mukazi mulungi
era maama asembeza abantu.
Wabula mu katambi Zawedde talaga oba yasonyiye Weasel oba teyamusonyiye.