Enkalu mu kutwala Jose Chameleone mu America

OLUTALO ku by’Omusama Juliet Zawedde okutwala Jose Chameolene okujjanjabwa mu America n’omujjanjabi we Weasel, lugulumbizza abasawo, abajjanjabi, abazadde, kkampuni y’ennyonyi, bayimbi banne ne Gavumenti.

Josephat Sseguya bwe yabadde asabira Chameleone mu ddwaaliro ku Lwokutaano ng’agenze okumulabako. Mu katono ye Zawedde.
NewVision Reporter
@NewVision

OLUTALO ku by’Omusama Juliet Zawedde okutwala Jose Chameolene okujjanjabwa mu America n’omujjanjabi we Weasel, lugulumbizza abasawo, abajjanjabi, abazadde, kkampuni y’ennyonyi, bayimbi banne ne Gavumenti.
Okuva Zawedde lwe yagenze mu ddwaaliro n’akkaanya ne Chameleone okutwalibwa ajjanjabwe, wabaddewo akatuubagiro ng’abamu ku banene mu Gavumenti bagamba nti, omuyimbi oyo alina kujjanjabwa Gavumenti eyali yamutandikako edda nga ne Pulezidenti Museveni ekyo yabadde yakisazeewo dda.
Abakungu okuli ne minisita w’abavubuka n’abaana, Balaam Barugahara bagamba nti, Gavumenti y’esaanidde okujjanjaba Chameleone kuba wa ggwanga lyonna.
Zawedde eyabadde yasasudde edda tikiti z’ennyonyi 2, yasobeddwa. Yaziguze doola 8,000. Eya Chameleone agenda okutwalibwa ng’omukungu, yaguliddwa doola 6,000 (mu za Uganda 22,200,000/-) ate eya Weasel yaguliddwa doola 2,000 (mu za Uganda 7,400,000/-).
Zawedde yasooka kukkaanya na Chameleone ne bazadde be, ssaako abasawo nti yeetaaga kusooka kujjanjabwako atereeremu afune amaanyi agalinnya ennyonyi.
Mu maloboozi agaasooka okulemesa Zawedde okumutwala, ensonda zigamba nti waliwo n’abaagenda ku kkampuni y’ennyonyi egenda okubatwala leero ku Mmande nga balabula nti, omulwadde gw’egenda okutwala muyi.
Ebyo byayongera okutabula embeera, enkiiko ez’amangu ne zituula okusalawo. Wakati mu kusika omuguwa, Moses Ssali (Bebe Cool) omu ku mikwano gya Chameleone y’omu ku baazibaddemu.
Bebe Cool ng’era y’omu ku baasaba Gavumenti mu July w’omwaka oguwedde okusasulira Chameleone eyali mu America mu ddwaaliro bbiiru, yakkaanyizza n’abaabaddewo nti kituufu Gavumenti y’erina okumujjanjaba, kyokka olw’okuba Zawedde yaguze ne tikiti, ate nga baagala Chameleone awone, agende.
Chameleone alumizibwa akataago abasawo ke baamulabula nti keetaaga kulongoosa. Balaam yategeezezza, olutalo lw’ani alina okutwala Chameleone mu ddwaaliro lwawedde.
“Gavumenti y’egenda okusasula bbiiru y’eddwaaliro gy’ali essaawa eno ze babadde bamujjanjabira. Twakkirizza mukwano gwe Zawedde nga bwe yasabye kyokka Gavumenti egenda kutuusa ku Chameleone bye yeetaaga,” Balaam bwe yagambye.
Gavumenti era yakkirizza Chameleone okuyita mu kifo eky’ekikungu omuyitibwa abantu ab’enkizo (VIP) ku kisaawe e Ntebe.
Bukedde naye yalambudde Chameleone gwe yalabye nga bw’aba ayogera mugumu, naye agira n’asirika mu bwennyamivu ng’alumwa.
Alina ssappule gye yasibye ku mukono gy’aggyayo n’asomako. Abasawo bazze bamukuba ebifaananyi ebikebera mu lubuto nga mu kusooka abaali balowooza nti alusa, baakakasa nti akataago ke kasinze okusajjulwa olw’embeera.
LWAKI ZAWEDDE Y’ATWALA CHAMELEONE
Zawedde yategeezezza nti, amaze emyaka nga 20 nga ba mukwano ne Chamilli era ne bazadde be (aba Zawedde) bamanyiganye ne Chamilli. Agamba nti Chameleone si gw’abeereddewo yekka, alina abantu abalala bangi b’azze ayamba. 

Yalaze ppulaani gy’ategese okujjanjabirako Chameleone n’entambula z’ennyonyi nga bwe basituka leero e Ntebe ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi, bagenda kutuuka e Dubai ku ssaawa nga 6:00 ez’ekiro baveewo nga bukya batuuke ku kisaawe kya Logan International Airport mu kibuga Boston mu ssaza ly’e Massachusetts.
Zawedde agamba nti, yakoze ‘buukingi’ z’eddwaaliro n’emmotoka ezinaabaggya ku kisaawe batuukire mu ddwaaliro