Poliisi ekutte n’eggalira sugammami eyagenze ku bbiici ne muganzi we, n’afiirayo.
Omuvubuka eyafudde ye Junior Frank Akankwasa ng’abadde n’emyaka 20. Bazadde b’omugenzi balumiriza omukazi Pamela Mutesi 34 nti amanyi ku by’okufa kwa mutabani waabwe era ensonga baazitutte ku poliisi eyamukutte n’abalala babiri.
Mutesi Gwe Balumiriza.
Omugenzi yafiiridde ku bbiici ya Nabyewanga esangibwa mu disitulikiti y’e Mpigi gye baagenze mu bbinu lw’okumalako omwaka n’okuyingira ogwa 2025. Akankwasa abadde abeera ne bazadde be, Sam Orishaba ne Grace Mbabazi ku kyalo Kasajjagirwa e Masaka.
Kigambibwa nti omugenzi abadde amaze ebbanga lya myaka etaano nga baagalana ne Pamela Mutesi wadde ng’abadde mukazi mufumbo.
Maama w’omugenzi, Mbabazi yategeezezza nti ensonga za Mutesi okuganza mutabani we yazituusaako ne mu LC y’ekitundu ssaako ne poliisi ng’ayagala bamuyambe omukazi aleme kumwonoonera mwana naye nabo nti ne balemererwa.
Mutesi musuubuzi mu kibuga Masaka ng’alina edduuka eritunda engoye erya Pam Boutique ku kizimbe ekiyitibwa Muto Complex. Bba amanyiddwa nga Joze ng’akolera ku ssundiro ly’amafuta erimu mu Masaka.
Kigambibwa nti Mutesi yakubira omugenzi amasimu agokumukumu ng’amusaba bagende beeweemu ku lwa December nga 31, 2024 era baagenda ne mikwano gyabwe abalala.
Nti baatuukira mu masanyu ga kuwuga nga bwe banywa n’okulya ebyennyanja, era obudde olwaziba ne bakuma ekyoto (camp fire) kwe baawummulira, nti era awo obulamu bwa Frank we bwakoma.
Mutesi yakwatiddwa n’aggalirwa ku poliisi y’e Masaka ne banne babiri okuli; Ogesha Sserwanja ne Sudhir Musinguzi abaategeezezza poliisi nti baabadde n’omugenzi kyokka n’abebbako n’agenda ekiro mu mazzi okuwuga yekka nga tebamanyi.
Akankwasa Eyafudde.
Mutesi yagambye nti okutegeera nti Frank afudde baawulira bantu nga babuuza bannannyini muntu afiiridde mu mazzi ekiro kwe kutegeera era ne bamunnyululamu.
Kyokka bino aba ffamire ya Frank babiwakanya nga bagamba nti, omwana waabwe yattibwa nga baagala poliisi eyongere okunoonyereza n’okunyweza abantu be yali nabo.
Maama w’omugenzi yategeezezza nti Mutesi abadde n’omusajja we amanyiddwa ku kyalo era olumu yamulumba (omusajja) n’amuloopera engeri mukyala we gy’abafuukidde ekizibu olw’okulemera ku mutabani waabwe.
Mbabazi yagasseeko nti lumu yatuuka n’okusibira Mutesi mu kazigo ka mutabani we mw’asula n’amukuba kibooko wabula mu kifo ky’okwetonda nti yamulabula nti amaziga g’amukaabizza naye agenda kugamukaabya.
Kigambibwa nti Mutesi abadde anyumirwa okulya obulamu era nga tagwa bifo ebisanyukirwamu nga Nabugabo, ku mugga Kiyira ne bbiici ez’enjawulo.
LIPOOTI Y’ABASAWO
Omu ku baayambye ku bazadde okuggyayo omulambo mu ggwanika n’okufuna lipooti y’abasawo, ayitibwa Harriet Namisango yategeezezza nti lipoota yalaze nti omugenzi nga tannafa yasoose kunyigibwa mimiro ne gyegatta mu ngeri y’okumutuga.
Nti ensigo munda nazo zeenyize ekirabika nti kyavudde ku kusooka kumusamba n’okumutulugunya. Yagambye nti omubiri gwabaddeko enkwagulo n’ebinuubule ebiraga nti ayinza okuba nti yawaluddwa n’okukubwa nga tannasuulibwa mu mazzi mwe yannyuluddwa.
Omwogezi wa poliisi e Masaka Twahah Kasirye yategeezezza nti bakyanoonyereza okuzuula oba ng’abakwate bye boogera bikwatagana ne lipooti y’abasawo ebiraga embeera y’omulambo bwe gwabadde gufaanagana.
Kasirye yategeezezza nti abakwate baakuzzibwa e Mpigi omusango gye gwaddizibwa ne ffayiro bakugitwalayo. Omugenzi yaziikiddwa ku kyalo Kiruhura mu Rushere. Abakwate bakyakuumirwa ku poliisi e Masaka.