OKUJAGUZA AMAZAALIBWA GA KABAKA

MU kitabo kye The Desecration of My Kingdom, Ssekabaka Edward Muteesa II anyumya ku mukwano gwe yalina n’Omuzaana Sarah Nalule Kisosonkole,ogwavaamu Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II.

Amazaalibwa ga Kabaka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MU kitabo kye The Desecration of My Kingdom, Ssekabaka Edward Muteesa II anyumya ku mukwano gwe yalina n’Omuzaana Sarah Nalule Kisosonkole,
ogwavaamu Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II.
Omukwano guno gwe gwamuwaliriza okumuyita basisinkane mu kibuga Nice ekya Bufaransa, Muteesa gye yali ng’awummuddeko mu biseera we yabeerera mu buwang’anguse obwasooka mu 1954.
Muteesa mu kiseera kye nga Kabaka wa Buganda, yawang’angusibwa emirundi ebiri. Ogwasooka, Buganda yali wansi w’obufuzi bw’amatwale wansi wa Bungereza, era Gavana eyali ayambako Nnaabakyala wa Bungereza okufuga Buganda, Andrew Cohen ye yawang’angusa Muteesa ng’amulanga kusimbira kkuuli ekiteeso ky’okugatta Buganda wamu n’amawanga agali mu buvanjuba bwa Africa Omuzungu agafugire wamu.
Muteesa, we yabeerera mu buwang’anguse, yagendako mu kibuga Nice okuwummulako
ku bbiici ez’omulembe. Eno gye yasinziira okutumya Omuzaana Nalule eyali mu kibuga Florence ekya Yitale ng’akwazza emisomo.
Akabanga ke yamala naye, Omuzaana yatandika okuyoya obuyembe era Muteesa agamba mu kitabo kye nti yagenda naye e Bungereza mu London mu kifo ekiyitibwa Harrods, awatundibwa ebintu eby’omulembe omuli engoye, n’ebyokwewunda, n’amugulira kalonda yenna omukazi ow’olubuto gw’alina okuba naye nga yeetegekera okuzaala.
Okusinziira ku mboozi ey’akafubo olupapula lwa New Vision gye lwalimu ne Margaret
Namwanje Kavuma, eyali mukwano gwa ffamire ya Muteesa ow’oku lusegere, eyafuluma nga January 21,1999, Muteesa yasinziira Bufaransa gye yali n’Omuzaana, n’akubira mikwano gye e Bungereza omwali ne Namwanje, n’abakubako amawulire
nti omuzaana yali atandise okusesemasesema ate ng’alwala, akamu ku bubonero obulaga
omuntu ali olubuto.
Namwanje yalina n’ebifaananyi nga Muteesa ali n’omuzaana Nalule e Bufaransa ne Bungereza nga balya obulamu, era byayanjulwa ne mu lukiiko lwa Buganda
mu 1999. Ssaabawolereza wa Gavumenti ya Ssaabasajja mu kiseera ekyo John Katende ye yalaga Obuganda ebifaananyi bino, okusobola okuggyawo okubuusabuusa
okwaliwo.
Mu mboozi eno, Namwanje agamba nti mikwano gya Muteesa gyabawabula nti bave e Bufaransa bakomewo e Bungereza, era ne bakizuula nti omuzaana yalina
ettu, ne bakola enteekateeka ezimukomyawo e Uganda gy’aba azaalira Omulangira, asobole okufuna obutuuze.
Omuzaana yakomawo e Uganda, era nga April 13,1955 n’azaala omulangira Mutebi kati Kabaka wa Buganda.
ESSANYU ERYALI E BUNGEREZA
Namwanje mu mboozi ye anyumya nti Ssekabaka Muteesa amawulire bwe gaamugwa mu matu nti Omulangira azaaliddwa, essanyu lyamubugaana era n’ayita mikwano gye ku kabaga ak’okwebaza Katonda, akaal ku Ritz Hotel, 21 Eaton Place,
London. Akabaga kano keetabwako Maj. Carr Gomm, Capt. Ronald Owen, n’abalala era wano Muteesa we yagambira mikwano gye nti; “Katonda azzeemu essaala zammwe, Kati mufunye Kabaka.”
ENKOLAGANA Y’OMUZAANA NALULE NE MUTEESA
Muteesa bwe yatuuka okuwasa, yagenda mu maka ga Christopher Kisosonkole aggyeyo Omuzaana, kyokka ku olwo teyasobola kuvaayo naye.
Hamim Ssentongo, akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kyankwanzi, nga yaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Kiboga nga naye yali ku lusegere lw’Obwakabaka, ebyaliwo abinyumya bwati; Ebyafaayo bye mmanyi ku buzaale bwa Ssaabasajja, nabiggya
ku ssenga wa mukyala wange, kati omugenzi Manjeeri Namagembe Kaddu, eyali Nanzigu wa Ssekabaka Muteesa II, (eyali Lubuga wa Ssekabaka Muteesa II) eyaziikibwa mu masiro e Kasubi.
Yannyumiza nti; Muteesa II bwe yagenda mu maka ga Christopher Kisosonkole okuwasa, yasooka kwagala kuwasa Sarah Nalule Kisosonkole (nnyina wa Ssaabasajja
Mutebi II), naye olw’ennono eyaliwo ebiseera ebyo, ne bamulemesa, kuba kaalinga kalombolombo nti tosobola kulekawo muwala mukulu n’owasa muto we.
Bwe batyo ne bamuwa Damalie Kisosonkole, eyali mukulu wa Sarah Nalule n’afuuka Nabagereka.
Kyokka omutima gwa Muteesa gwali kw’ono omuto (Sarah Nalule era n’asigala nga muzaana we omuganzi ennyo.
Bwe yawang’angusibwa mu 1953, abantu abaamuli ku lusegere baakola enteekateeka
ezaakulirwa eyali katikkiro Paul Kavuma ne ffamire ya Sir Apollo Kaggwa ne batwala Sarah Nalule, Muteesa gye yali era eno gy  yafunira ettu ly’Omulangira Muwenda Mutebi, kati Kabaka waffe, era kino Muteesa kye yali yagala, nti Kabaka anamuddira
mu bigere alina kuva mu Sarah Nalule kuba omutima gwe gwamwagala nnyo.
Abubakar Kamukamu Kiryowa Mpiima, omutuuze w’e Wankulukuku, nga yali munywanyi wa Ssekabaka Muteesa II, agamba nti; Muteesa we yabeerera mu buwang’anguse, abantu be ab’omunda, baatuuza olukiiko e Kibuli omwali Jjajjange omugenzi Halima Nakku n’abalala, ne bateesa okumuweereza omuzaana Sarah Nalule Kisosonkole mu buwang’anguse gye yali.
Kyakolebwa kuba, Sarah yali ayagalalwa nnyo Muteesa II. Wadde yalina Nabagereka
Damalie Kisosonkole, naye nga Nalule ye yamuli ku mutima, nga gw’asuubira okuzaala Omulangira anaalya Nnamulondo nga n’abamuli ku lusegere bakimanyi.
 Enkya lindirira enteekateeka za Ssekabaka Muteesa II, okuzza Kabejja Sarah Nalule okwa boobwe azaalaire e Buganda Omulangira Mutebi. OKUVA ne leero Bukedde atandise okukutuusaako emboozi ezikwata ku kukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja
 Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aganaabaawo nga April 13. Leero LAWRENCE KIZITO NE
VIVIEN NAKITENDE bakutuusaako ekibuga Ssekabaka Muteesa II gye yasisinkana Omuzaana Sarah Nalule Kisosonkole;
Bwiino ku kibuga Kabaka Mutebi gye yazaalibwa OKUJAGUZA MAZAALIBWA GA KABAKA Ekibuga Nice kisangibwa mu bukiikaddyo bwa Bufaransa,
ku lubalama w’eriyanja li Mediterranean. Kirimu abantu 951,808 okusinziira ku bibalo
by omwaka oguwedde. Eno ye wasangibwa ekitundu kye bayita Rench Riviera, ekirimu
bbiici ez’omulenbe n’ebifo ebiwummulirwamu ebyettanirwa bannaggagga mu nsi yonna. Ekifuula ekifo ekibuga kino eky’enjawulo y’empewo ey’obulamu eva ku liyanja.
Okunoonyereza okwakolebwa Brookings Institution, ebyenfuna by’ekibuga kino biri
ku buwumbi bwa doola 47, n’obukadde 700