SSAABAKRISTU w’ekisomesa ky’e Busagazi mu disitulikiti y’e Buikwe, Ronald Bateganya asse mukazi we gw’amaze naye emyaka 25 ng’amulinamu abaana 8.
Bateganya, olwamaze okutta mukazi we, Betty Kagoya gwe yakubye ekintu ku mutwe, omulambo yagutadde mu mmotoka yaabwe ekika kya Wish UBN 651P n’agivuga okutuuka mu ssamba y’ebikajjo e Lugazi n’abulawo.
Abatuuze b’e Kasoga - Butavujja abaabadde bagenze mu nnimiro be baalengedde mmotoka nga bwe baagituukiridde ne balengeramu omulambo gw’omukazi nga mu kifo kye kimu, waabadde wawunya eddagala ly’ebirime.
Yamulimbye nti amutwala kucakala
Kagoya eyattiddwa y’abadde nnaabafumbo w’ekisomesa ky’e Busagazi mu ssaza ly’e Lugazi nga bba okumutta yamulimbye nti amutwala bacakaleko oluvannyuma n’amwefuulira. Abafumbo baabadde batuuze b’e Busagazi mu ggombolola y’e Najja.
Bateganya omuvuzi wa takisi ku siteegi ya Kiyindi - Jinja era aliko obubaka bwe yaweerezza abantu ku mikutu gya WhatsApp egy’enjawulo n’abategeeza nga bw’asse mukazi we oluvannyuma lw’okumukwata lubona ng’anyumya akaboozi ne asikaali gwe baateeka ku bbiici yaabwe.
Mu butambi bw’amaloboozi bwe yaweerezza mikwano gye, bwabaddemu obubaka buno; “Mukyala wange mbadde mmwagala nnyo kyokka ankoze buli kibi, abasajja ku kyalo ne batuuka n’okumuzaalamu abaana babiri.
Mbadde simujuza kyokka bwe kyatuuse okuganza asikaali ne kimpitirirako. Mmukutte emirundi mingi mu bwenzi nga mmusonyiwa kuba mbadde mwagala nnyo...” Okunoonya Bateganya kwatandise ng’abamu balowooza nti yandiba nga naye yesse.
Poliisi okuva e Lugazi yazze ne yeekebejja ekifo n’okuggyayo omulambo mu mmotoka era omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto yagambye nti banoonya Bateganya avunaanibwe ogw’obutemu.