Ssenyonyi awandiikidde Sipiika ku by'obutamuyita mu nkiiko k'abakaminsona

AKULIRA oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi awandiikidde Sipiika wa Palamenti Anita Among ebbaluwa ng’ayagala okumanya lwaki tayitibwangako mu ntuula z’akakiiko akafuga Palamenti aka Parliamentary Commission

Joel Sennyonyi akulira oludda oluvuganya ng'annyonnyola
By Kizito Musoke
Journalists @New Vision
AKULIRA oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi awandiikidde Sipiika wa Palamenti Anita Among ebbaluwa ng’ayagala okumanya lwaki tayitibwangako mu ntuula z’akakiiko akafuga Palamenti aka Parliamentary Commission.
Ebbaluwa ya Ssenyonyi eriko ennaku z’omwezi nga June 12, 2024 yasabye Sipiika amunyonnyole lwaki tayitibwa mu nkiiko ng’ate amateeka okuli erya Administration of Parliament (Amendment) Act ne Parliamentary Rules od Procedure gonna galaga nti akulira oludda oluvuganya abeera mmemba w’akakiiko.
Ekyewunyisa Ssenyonyi kwe kuba nga bukya alondebwa mu January wa 2024 tayitibwangako mu lukiiko lwonna, wadde ng’azze awulira nti batuula mu kasirise mu ofiisi ye.
Ogumu ku mirimu gy’akakiiko kano kwe kutuula ne bayisa Bajeti ya Palamenti era yebuuza oba nga ddala baatuula nga tayitiddwa ne babeerako bye bayisa.
Palamenti bwebeera yaakukola mirimu bulungi erina okubeera erina okuba ng’evaayo n’etegeeza bamemba baayo ku nsonga yonna ng’etandikira ku bamemba ba Parliamentary Commission, eri ababaka ba Palamenti ne Bannayuganda bonna.
Ekikolwa kya Parliamentary Commission okutuulanga n’ebakiise abamu abalala ne batayitibwa kireetawo okubuusabuusa ku mirimu egikolebwa.
Akakiiko ka Parliamentary Commission kakubirizibwa Sipiika wa Palamenti, omumyuka wa Sipiika, bakamisona ba Palamenti 4, akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Katikkiro wa Uganda era akulira emirimu gya Gavumenti, minisita w’ebyensimbi n’abalala.
Ssenyenyi waaviiriddewo nga waliwo okusika omuguwa naddala ku kiteeso ky’okugoba bakamisona abana okuli; Mathias Mpuuga (Nyendo-Mukungwe), Solomon Silwany (Bukooli Central), Prossy Akampurira (mukazi/Rubanda) ne Esther Afoyochan (mukazi/ Zombo) be balumiriza okwegabanya akawumbi kamu n’obukadde 700 ng’akasiimo.