Amawulire

Ssentebe w’e Wakiso waakuvuganya ku kya Busiro South ku bwannamunigina

SSENTEBE wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika oluvannyuma lw’okummibwa kaadi ya NUP, asazeewo avuganye ku bwannamunigina ku kifo ky’omubaka wa Busiro South mu kulonda kwa 2026.

Ssentebe w’e Wakiso waakuvuganya ku kya Busiro South ku bwannamunigina
By: Peter Ssaava ne Sauyah Namwanje, Journalists @New Vision

SSENTEBE wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika oluvannyuma lw’okummibwa kaadi ya NUP, asazeewo avuganye ku bwannamunigina ku kifo ky’omubaka wa Busiro South mu kulonda kwa 2026.

 

Yategeezezza nga bw’agenda okukozesa akabonero k’essaawa kyokka nti kino tekigenda kumuggya mu kibiina kye ekya NUP era nti agenda kunoonyeza Pulezidenti we akalulu asobole okuwangula entebe y’obwapulezidenti.

 

Bwanika yasinzidde mu lukung’ana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso, n’ategeeza nti okummibwa kaadi kyavudde ku nkola etali nnung’amu eyayitiddwaamu akakiiko akagaba kaadi.

 

Bwe yabuuziddwa lwaki yajemedde ekibiina n’ajja ku bwannamunigina ng’ate ekibiina kyabagamba basimbe emabega w’abaweereddwa kaadi, yagambye nti enkola eyayitibwamu okusunsula abaagala kaadi teyamumatiza ng’akakiiko kaakola byako.

 

“Baatuteereddewo akakiiko akatunula mu nsonga zaffe, naye nze saakagenzemu kuba kaawereddwa ennaku ntono ate kaabadde kajja kujuliza abakulembera ekibiina, ate nga nkimanyi bonna bali ne pulezidenti wange banoonya kalulu.” Bwanika bwe yayongeddeko.

 

Yategeezezza nti kyokka singa Pulezidenti w’ekibiina kye, Robert Kyagulanyi Ssentamu amukubira ku kasimu, ajja kukkiriza okwogerako naye balabe ekiddako, nti kyokka kino akirabamu okusoomoozebwa kuba Kyagulanyi ali mu kampeyini.

 

Bwanika yeebazizza nnyo bannakibiina kya NUP awamu n’abantu ba Wakiso olw’okumussaamu obwesige n’abakulembera nga ssentebe waabwe ekisanja ekigenda okuggwaako era n’alaga nti okujja okuvuganya ku ky’obubaka wa Palamenti yasooka kwebuuza ku bakulu abawerako.

Tags:
Ssentebe
Busiro South
Kuvuganya
Wakiso
Matia Lwanga Bwanika