ABATUUZE b'e Komamboga baalajanidde ebitongole by'okwerinda ku ekibinja ky'ebijambiiya ekibayingirira mu mayumba n'okubateeka mu ma kubo ne babanyagulula
Abatuuze be mu muluka gwe komamboga mu minisipaali ye kawempe bagamba ekitundu kirimu ebibinja by’abamenyi b’amateeka abenjawulo , abanyakula amassimu n’obusawo ku nguudo , ababba ebirime n’ebisolo ng’abasinze okubateeka ku bunkenke be bebijambiiya nga bano bambala n’obukookolo ne babayingirira mu mayumba ne babanyagulula .Omulangira Herbert Kimbugwe ssentebe wa LCll mu muluka gwe Komamboga yalambuzza Bukedde enfo abakyamu mwe basinzira nategeezza nti abamu ku batuuze abaalozezza ku bukambwe b’ebijambiiya baawaliriziddwa okwetegula ekyalo ne basengukira awala okutaasa obulamu .
Omutuuze eyakoleddwako obulumbaganyi ng'ali ku kitanda apooca n'ebiwundu
Yagasseko nti ensonga eno baagiteegeezza poliisi ebatwala eye Ssekannyonyi ku mayiro mukaaga ku luguudo lwe Gayaza nga tewali mukyamu yenna ku bebijambiiya yali akwatiddwa ekyongedde okuteeka abatuuze ku benkenke ng’ekibinja kino kiyingirira abatuuze n’ebijambiiya nga bataddeko n’okukookolo nga bw’ekituuka ku bakazi abamu n’akaboozi kabakakibwa .
Luke Owesigyire omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano agamba nti ebikwekweto bikolebwa mu kitundu ekyo ng’abatuuze bwe balaba nga poliisi y’omu kitundu erina byebusizza amaaso basoboola okugenda ku poliisi ye kawempe ne bekubira enduulu
Noah Mukasa ssentebe wa LC1 ye Komamboga Central yagambye nti mu kitundu bakafuna amaka asatu agemulugunya ku b’ebijambiiya ng’abamu baatusibwako ebisango ne babanyagulula ebintu by’omunju ng’abakyamu bano baana nzaalwa za ku kyalo we yasabidde abazadde okufaayo okulondoola abaana baabwe bye bakola .
Latifa Nalubega omu ku baayingiriddwa akabinja kano yagambye nti essaawa zabaadde ssaawa 8 ez,ekiro nga teyawuliddeko ngeri gye baanyingiddemu yabekangidde munda nga baabadde bana ng’abasatu baabadde bambadde obukookolo nga bakutte ebiso ne bamusaba ssente n’essimu nga munju yabaddemu 50,000 n’azibawa ng’ekyamuyambye obutatusibwako bulabe teyabaakayanyizza obwedda buli kye bamusaba ng’akibawa