Amawulire

Sipiika awanjagidde abasomesa abali ku keediimo okudda ku mirimu gyabwe

SIPIIKA wa Palamenti Anita Among awanjagidde abasomesa abali mu keediimo okwekuba mu mutima badde ku mirimu gyabwe, basomese abaana b'eggwanga nga gavumenti bw’ekola ku nsonga zaabwe ey'okulinnyisa emisaala.

Sipiika awanjagidde abasomesa abali ku keediimo okudda ku mirimu gyabwe
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

SIPIIKA wa Palamenti Anita Among awanjagidde abasomesa abali mu keediimo okwekuba mu mutima badde ku mirimu gyabwe, basomese abaana b'eggwanga nga gavumenti bw’ekola ku nsonga zaabwe ey'okulinnyisa emisaala.

Abamu ku bawagizi b'ekibiina abaakung'aanye.

Abamu ku bawagizi b'ekibiina abaakung'aanye.

Among bw’abadde ayogerako eri abatuuze mu Irundu Town Council mu Budiope East gy’abadde  agenze okutongoza okuwenjeza pulezidenti Museveni akalulu mu Busoga, Ssentebe w’ekitundu kino, Karim Wako asoose mmuloopera wa NRM w’ekoze obulungi kw’osa n’ebizibu bye bakyalina.

Wako agambye nti gavumenti yasobola okubazimbira eddwaliro wabula nga ekizibu ky’amasomero n’enguudo ezimu okukubwa kkolaasi kikyabakaabya.

Agambye nto abasomesa tebalina na webasula ku masomero nga n’kakeediimo akaliwo kabongedde amanayi obutalabikako.

Sipiika nga yegatiddwako banna NRM e Irundu

Sipiika nga yegatiddwako banna NRM e Irundu

Ono sipiika amutegeezezza nga ensonga eno pulezidenti bw’agimanyiiko era nga tebatudde bw’atyo n’asaba abasomesa okudda mu bibiina okusomesa abaana era ng’akadde konna baakutuula nabo okwogera ku nsonga eno.

Among era asekeredde abali ku mulamwa gwa Protest Vote n’agamba ku bintu Museveni by’akoze mu Busoga omuli amalwaliro, enguudo n’ebirala tewali kyetaaga kuvuganyizibwa.

Bw’atyo akunze abantu ssekinomu okuwenjeza pulezidenti Museveni akalulu kubanga byonna byakoledde eggwanga bwa bwakatonda.

Omubaka wa Bulamogi mu Kaliro - Bwiire Sanon agambye ebiruma Busoga bye bimu era nga pulezidenti Museveni yekka y’agenda okubimala.

Pulezidenti Museveni asuubira okuwenja akalulu e Buyende nga 19 omwezi ogujja.

Tags:
Amawulire
NRM
Sipiika