Hadijah Namyalo ne Hajji Hamis Kiggundu basiimiddwa

Akulira offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo n'omugagga Hamis Kiggundu (Ham) bawangudde awaadi  z'okubeera  abasiraamu ab'enjawulo zebayita  Halal Islamic Brunch.

Hajati Hadijah Namyalo nga bamukwasa engule ye
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

Akulira offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo n'omugagga Hamis Kiggundu (Ham) bawangudde awaadi  z'okubeera  abasiraamu ab'enjawulo zebayita  Halal Islamic Brunch.
  
     Namyalo yafunye engule bbiri okuli munnabyabufuzi  ow'enjawulo gattako okubeera omusaale mu kuggya abakazi  mu bwavu ng'abawa ebintu eby'okwekulaakulanya.
    Awaadi zino zategekeddwa' Biggie Events' ezabaddewo ku Ssande ekiro ku kifo ekissanyukirwamu ekya '4 Points' mu Kampala .
   Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab'enjawulo okuva mu bifo ebya maanyi mu busiraamu abalina etoffaali lye batadde ku nkulaakulana y'obusiraamu mu ggwanga.
       Namyalo yawadde  abaana abawala amagezi okukola nga okusalawo n'amagezi mu bulamu bwabwe kubanga kirina kinenne kye kisaalawo mu bulamu bwabwe obw'omu maaso.
   'Ffe ng'abakyala abasiraamu tulina okutambulira ku noono y'obuguminkkiriza, okulemeraako nga byonna tukulembeza  bwegendereeza. 
  Abalala abawangudde kuliiko Hajji Hamis Kiggundu yafunye awaadi y'okubeera omusuubuzi ow'enjawulo atandiliddewo abantu abalala emirimu gattako  Looya wa Pulezidenti Ssebuufu Usaama, Hajjat Shania Kigozi n'abalala