Katumba Oye asabye ebibiina ebivuganya Gv't okumuwandako eddusu addemu avuganye  Museveni kuba y'amusobola

EYAVUGANYAKO ku Ntebe y'Omukulembeze w'e Ggwanga John Katumba era amanyiddwa ennyo nga Katumba Oye asabye abakulembeze b'ebibiina by'obufuzi ku Ludda oluvuganya gavumenti okumuwandako Eddusu  y'Aba abakwatira Bendera ku Ntebe kya Pulezidenti mu kalulu ka 2026. 

John Katumba amanyiddwa nga Katumba Oyee ng'annyonnyola
By James Magala
Journalists @New Vision
EYAVUGANYAKO ku Ntebe y'Omukulembeze w'e Ggwanga John Katumba era amanyiddwa ennyo nga Katumba Oye asabye abakulembeze b'ebibiina by'obufuzi ku Ludda oluvuganya gavumenti okumuwandako Eddusu  y'Aba abakwatira Bendera ku Ntebe kya Pulezidenti mu kalulu ka 2026.
 
Ng'asinziira mu lukungaana lwa Bannamawulire lw'atuuzizza e Ntinda John Katumba alaze obwennyamivu olw'abavubuka abayitirivu abazze bafiiri mu bwegugungo bw'eby'obufuzi obuzze bubeerawo n'ategeeza nti kye kiseera Situlago z'ayise ezitalina makulu zikomezebwe.
 
Katumba Oye agambye nti y'alina omulamwa ogw'okutwala e Ggwanga mu maaso oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni n'asaba abakulembeze b'ebibiina by'obufuzi ku Luddda oluvuganya gavumenti okumuwandako eddusi y'aba abakwatira Bendera ku bwa Pulezidenti mu kalulu ka 2026.
 
Mu ngeri y'emu Katumba alabudde abavubuka okukomye okwenyigira mu bikolwa eby'efujjo ebiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga olw'eby'obufuzi kyokka n'asaba Ssabaduumizi wa Poliisi okukoma ku basirikale mu kalulu ka 2026
 
Katumba alombozze ennaku gyeyalabira mu kalulu ka 2021 olw'obutaba na Ssente zimala nga n'Emmotoka mweyali agenda okwewandiisa ku bwa Pulezidenti yayabika  omupiira n'asalawo okuddusa ebigere era nga wano atongozza Kkampeyini eya Bannayuganda okumusondera Ssente ezinaamuyisa mu kalulu.