Pulezidenti Museveni awadde Abalangira obukadde 112

PULEZIDENTI Yoweri Museveni yeeyamye ku masiro ga Bassekabaka agali mu mbeera embi, gateekebwe ku mutindo ogwa waggulu gatuuke n’okufuuka eky’obulambuzi.

Museveni mu kifananyi n'abalangira abakulu b'emituba
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

PULEZIDENTI Yoweri Museveni yeeyamye ku masiro ga Bassekabaka agali mu mbeera embi, gateekebwe ku mutindo ogwa waggulu gatuuke n’okufuuka eky’obulambuzi.

Museveni era yawadde Abalangira obukadde 122 okuli 100 mu nsawo yaabwe ey’obwegassi (Sacco) ate 22 ezaabadde ezoobuliwo, zibayambe ku Lusirika lwaabwe ez’olusirika olw’omwaka guno.

Minisita Joyce Nabbosa Ssebuggwawo ng'akwasa Kikulwe ebbaasa ya bukadde 22 ez'olusirika

Minisita Joyce Nabbosa Ssebuggwawo ng'akwasa Kikulwe ebbaasa ya bukadde 22 ez'olusirika

Yasinzidde ku mukolo gw’okutema evvunike ly’ekizimbe ky’Abataka ku luguudo Kabakanjagala ku Lwokutaano oluwedde nga July 25, 2025 buli nsonga Abataka n’Abalangira gyebamutuusizaako n’agikolako.

Ekiwandiiko kya Abalangira ekyasomeddwa Omulangira Alex Kiyimba Kikulwe, nga ye Ssentebe w'Abalangira abakulu b'Emituba okusomera Museveni olukalala lw’ebintu bye baamusaba mu nsisinkano gyebaalina naye ku lwa June 8,2024.

“Ku masiro g’e Wakiso nnina okusooka okubasindikira ekibinja ky’abazimbi abakungu, balabe ekyetaagisa oluvanyuma tuteeketeeke. Nalweyiso, Abataka bano baagala kugendako Kyankwanzi nakyo kiteeketeeke,” Museveni bweyayogedde.

Amasiro agali mu mbeera embi kuliko aga Ssekabaka Kagulu e Mmende, Ssekabaka Chwa Nabakka e Kakiri, Mulondo e Mmende, Ssekamanya e Mmende, Mawanda e Wakiso n’amalala.

Ebirala ebyamusabiddwa Abalangira kuliko okubazimbira ekigango nga kibaliriddwamu ensimbi obuwumbi bubiri, okubafunira ettaka lya yiika 20 balimireko ovakeedo wa Hass nga kibalirirwamu obukadde 600, okubakyusizza ekyapa okutudde ekigango n’okusasulira omusolo gwa bukadde 18 era byonna yabikkiriza.

Kikulwe yabuulidde Museveni ng’Abalangira bwe balina ettaka eryaddizibwa e Bunyoro mu linnya lya Ssabalangira ku FC 26687 eritudde ku yiika 641 nga basaba baliyirirwe mu nkola ya ‘Land fund’.

Abalangira nga basanyukira obweyamo bwa Museveni

Abalangira nga basanyukira obweyamo bwa Museveni

“ Ku ttaka lino ly’e Bunyoro, Nabakooba mukolagane n’abantu abo. Naye bwefuna ssente zino kyetaaga muzikolemu ebintu omuva ensimbi,” Museveni bweyawabudde.

“Pulezidenti tulina eddundiro ly’embuzi e Kakiri. Wetulundira wafunda nnyo. Twazudde ettaka e Kakooge mu Nakasongola nga litudde ku yiika 100. Tusaba obuyambi mu kuligula tusobole okugaziwa mu bulunzi bw’embuzi,” Kikulwe bweyasomye.

Kino nakyo Museveni yakkiriza okubafunira ettaka lino era n’alaga essanyu olw’Abalangira okuba kati nga bakozi.

Mu nsisinkano eyaliwo Omwaka oguwedde era nga Museveni mweyasisinkanira n’Abataka, Kikulwe yamujjukiza nga ku lunaku olwo bweyalagira nti Abalangira;  Dr. Joseph Kateregga Muteesa ateekebwe ku mmeeza y’ebyobulamu mu maka g’Obwapulezidenti wansi wa dokita Okia.

Abalangira bano okuva ku ddyo; Fredrick Walugembe, Dr.  Joseph Kateregga Muteesa ne  David Alexander Ssimbwa, Museveni yabasuubiza okuba emirimu mu maka g'Obwapulezidenti

Abalangira bano okuva ku ddyo; Fredrick Walugembe, Dr. Joseph Kateregga Muteesa ne David Alexander Ssimbwa, Museveni yabasuubiza okuba emirimu mu maka g'Obwapulezidenti

Edward Fredrick Walugembe yalagira ateekebwe mu kitongole kya Tekinologiya eky’amaka g’Obwapulezidenti n’okumutwala e China ayongere ku misomo, David Alexander Ssimbwa nti yamusubizza okumuyamba mu kusoma kwe ate n’okuyamba ku faamu ye ate Kikulwe yalagira ateekebwe ku mmeeza y’amaka g’Obwapulezidenti ey’ebyobulimi wansi wa Rose Kabagyeni.

Abalangira bano mu kiwandiko baasabye Museveni, abakkirize babeere ekitundu ku ttimu ye emuwenjeza akalulu era nebasaba enteekateeka zikolebwe, batwalibwe mu ku misomo e Kyankwanzi batendekebwe.