NG’ESIGADDE olunaku lumu lwokka okutuuka mu Matikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 32, leero tukuleetedde Bassekabaka babiri abaakola ebintu eggwanga kwe likyatambulira n’ebyaliwa ettutumu.
Bano ye Ssekabaka Muteesa I eyalamula Obuganda okuva mu mwaka gwa 1856 okutuuka mu 1884 era nga ye Kabaka wa Buganda owa 30. Kuno kw’ossa ne Ssekabaka Mwanga II eyakulembera
Buganda okuva mu 1884 kyokka n’alwanyisibwa Abazungu abaamuggya ku Nnamulondo nga mulamu, era nga ye Kabaka wa Buganda owa 31.
OBUGUNJUFU BWATANDIKIRA
KU SSEKABAKA MUTEESA I Obugunjufu bwe tulaba leero mu Uganda yonna bwatandikira ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa I. Erinnya lya Muteesa yalifuna luvannyuma nga yasooka kuyitibwa Mukaabya olw’okubayali mukambwe mu bukulembeze bwe. Yatta abantu bangi omwali n’Abalangira ng’abatangira okumuggya
mu ntebe.
Olw’okwagala abantu be bongere okutegeera enkola ya bizinensi, Ssekabaka Muteesa I yawandiikira Kkwiini wa Bungereza ebbaluwa ng’ayita Abazungu bajje basomese
abantu be.
Akulira ebyobuwangwa mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe, Francis Kasolo Walusimbi agamba nti, kituufu Muteesa I yawandiika ebbaluwa eyita Abazungu, naye ekigendererwakye ekikulu kyali kya kufuna bantu banaamuyambako okukuuma
ensi ku balabe be yali yeekengedde okuva mu Misiri abali boolekedde okumulumba
olw’omugga Kiyira.
Olw’ebbaluwa eno, Abazungu bajja mu Buganda ne batandika okusomesa abantu mu nsomesa eggwanga kwe likyatambulira.
Ensonga lwaki yunivasite ya Buganda baagibbulamu Muteesa I Royal University. Mu Bazungu abajja, mwe mwali n’Abaminsani abaasomesa eddiini z’Ekikristaayo abantu bangi ze bakyagoberera. Baazimba amalwaliro nga gonna maanyi ga Ssekabaka Muteesa I. Ebirala Muteesa I bye yakola mwalimu: Okuzimba Olubiri lw’e
Bbanda. Yalya Obwakabaka nga myaka 17 era yasooka kukambuwala wabula oluvannyuma yateesa n’abantu ne bamuwa erya Muteesa.
Ennyumba ye yagituuma Muzibwazaalampanga era bwe yakisa omukono, mwe baamutereka ne gafuuka Amasiro amakulu aga Buganda, era mwaterekebwamu
Bassekabaka Mwanga II, Daudi Chwa II ne Muteesa II.
SSEKABAKA MWANGA II
Yalagira okusima ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba Eyaliko Ssaabaddu w’eggombolola
ya Kira, Nathan Kaggwa Kasibante agamba nti: Ssekabaka Daniel Mwanga Basammulekkere yali mutabani Muteesa I era ye yamusikira.
Ono yatuula ku Nnamulondo mu 1884 okutuuka mu 1888.
Mu mwaka ogwo yawahhangusibwa Abazungu kyokka n’akomawomu mwaka gwa 1889 okutuuka mu 1897. Nnyina ye Abisagi Baagalaayaze ow’Engonge.
l Olw’okwekengera abasomi b’eddiini abaali bacaase ku mulembe gwe, yatandika ekiwendo eky’okuyigga n’okubatta era yatta Abasiraamu, Abakristaayo n’Abakatoliki abayitibwa Abajulizi be tujjukira buli lwa June 3, mu nsi yonna, e Namugongo.
l Ssekabaka Mwanga ye yasimisa ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba wakati wa 1885 ne 1888 ng’ayagala okugigatta ku nnyanja Nalubaale ne kitatuukirira olw’entalo z’eddiini
ezaali mu Buganda mu kiseera ekyo.
l Yaggyibwa ku Nnamulondo emirundi egiwerako ng’awahhanguka n’awaguza n’adda
okulwana kyokka baamala ne bamuwangula.
l Ssekabaka Mwanga II ye yatandika eggye ly’Abayinda lye yassaawo okulwanyisa Abazungu.
l Mwanga okukwatibwa, omulundi ogwasemba gwali mu mwezi gwa April 1899 era yakwatibwa n’Omukama wa Bunyoro Kabaleega bwe baali bagasse amaanyi
okulwanyisa Omuzungu. Baatwalibwa ku bizinga bya Seychelles, eno Mwanga gye baamubatiriza mu ddiini ey’Ekikristaayo n’atuumibwa Daniel. Era eno gye yakisiza omukono mu mwaka gwa 1903 ku myaka 35, enjole ye n’ekomezebwawo ku butaka mu mwaka gwa 1910 n’aterekebwa mu Masiro e Kasubi - Nabulagala.
l Ajjukirwa okuzimba bbuggwe owa bbulooka ku Lubiri lw’e Mmengo olwali olwa kitaawe Ssekabaka Muteesa I.