Amawulire

Ab'ebyobulambuzi batongozza empaka za Rajiv Ruparelia Memorial Rally

EKITONGOLE kye by'obulambuzi mu Gwanga ekimanyibwa nga Uganda Tourism Board (UTB)  batongoza emmotoka z'empaka ezimanyiddwa nga Rajiv Ruparelia Memorial Rally nga zino zigendereddwamu okujjukira ebintu Rajiv byeyakolera emmotoka z'empaka mugwanga

Jyotsna Ruparelia maama w'omugenzi Rajiv nga batongoza Rajiv Memorial Rally
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

EKITONGOLE kye by'obulambuzi mu Gwanga ekimanyiddwa nga Uganda Tourism Board (UTB)  batongoza emmotoka z'empaka ezimanyiddwa nga Rajiv Ruparelia Memorial Rally nga zino zigendereddwamu okujjukira ebintu Rajiv byeyakolera emmotoka z'empaka mugwanga

Ezimu ku mmotoka ezeetabye mu Rally

Ezimu ku mmotoka ezeetabye mu Rally

Empaka zino zitegekebwa mu kibuga kye Gulu nga zetabiddwaamu abavuzi abenjawulo okuli Dancan Mubiru Kikankane  , Ronald Sebuguzi  , Pontiano Rwakataka n'abalala  era nga omuwanguzi abadde Dancan Mubiru Kikankane.

Sudhir Rupelia Taata w'omugenzi agambye nti musanyufu nnyo okuba nga abatuuze be Gulu wamu ne UTB batandise Empaka zino mu kitundu kino kubanga kiraga omukwano gwebalina eli Rajiv .

Okusimbula emmotoka

Okusimbula emmotoka

Hon Okello Oryem ategeezezza nti omukululo gwa Rajiv gwakusigalawo kubanga yakola ebirungi bingi eri abantu nadala mu bye mizanyo nadala munsiike ye mmotoka zempaka . 

Mayor we Gulu Alfred Okwong agambye nti Empaka zino zireese abantu bangi okusobola okwetaba mumpaka zino zagambye nti zaali nungi era baagala zisigale nga zitegekebwa mu kibuga kye Gulu.

Tags: