Emisinde
100m women T12 & T13
1. Brenda Nabwire (MUBS) 16.7
2.Apia Mavrice (MUBS) 22.4
3.Diana Muwanguzi (Kyambogo) 23.1
5000m T12 & T13
1. Robert Lwanga (Kyambogo) 18.6
2. John Ocira (Gulu) 19.1
3. Desmond Opio (Gulu)
Blind Football
Kyambogo 1-0 MUBS
Gulu Univ 2-1 Kabale
Emizannyo gyabaliko obulemu egyeggwanga gyagguddwawo mu kibuga kye masaka nemizannyo egiwerako omwabadde emisinde, omupiira, ensero, okusitula obuzito nemirala.
Emisinde gy'abaliko obulemu
Egyomwaka guno gitambilidde ku mulamwa gwakumalawo miziziko nokuzimba obuwanguzi mu bantu abaliko obulemu nga gyetabiddwamu abavubuka abaasobye mu 500 okuva mu district 17 okwetoloola eggwanga.
Emizannyo gyategekeddwa ekibiina ekiddukanya emizannyo gyabaliko obulemu ekya National Paralympic committee nekigendererwa ekyokuzuula nokulondoola ebitone mu bavubuka abanaakiikirira eggwanga mu mizannyo gyendi yonna.
Nnantameggwa wemisinde gya Olympics David Emong yomu ku basazi bempaka zomwaka guno wamu nomutendesi wabaddusi Vincent Mutagubya era nga bano baatenderezza abavubuka abeetabye mu zomwaka guno.
Empaka zomwaka guno zeetabiddwamu abavubuka abasoba mu 500 okuva mu district 17 okwetolola eggwanga nga beetabye mu mizannyo omuli emisinde, okusitula obuzito, ensero, omupiira gwabamuzibe nemirala.
Emizannyo gy'abaliko obulemu
Masaka yeetisse ezaguddewo nga yafunye emidaali 19 okuli egya zaabu 8 feels 9 ne gyekikomo 2 neddirirwa Kabale nemidaali 14 omugatte.
Bweyabadde aggulawo emizannyo gino RCC wa masaka Abdul Ahmed Washaki yatenderezza Paralympic committee olwobutalekerera bitone byabaliko obulemu.
Emizannyo gyakukomekkerezeba ku lwokutaano lwa wiiki eno no mukolo ogwokugaba ebikopo nemidaali.