Amawulire

Muntu aweze okufaafagana n'abatunda eddagala ly'ebirime ery'ebicupuli!

Major Gen. Gregory Mugisha Muntu akwatidde ekibiina kya Alliance for National Transformation bendera ku bwapulezidenti agumizza abalunzi n'abalimi nti bwafuuka Pulezidenti wa Uganda eddagala ery'ebisolo n'ebirime ery'ebicupuli byakufuuka lufumo mu ggwanga.

Muntu aweze okufaafagana n'abatunda eddagala ly'ebirime ery'ebicupuli!
By: James Magala, Journalists @New Vision

Major Gen. Gregory Mugisha Muntu akwatidde ekibiina kya Alliance for National Transformation bendera ku bwapulezidenti agumizza abalunzi n'abalimi nti bwafuuka Pulezidenti wa Uganda eddagala ery'ebisolo n'ebirime ery'ebicupuli byakufuuka lufumo mu ggwanga.

Muntu ng'ayogerako eri ababbooda bwe yabadde e Ssembabule eggulo.

Muntu ng'ayogerako eri ababbooda bwe yabadde e Ssembabule eggulo.

Bwe yabadde mu kusaggula akalulu mu disitulikiti y'e Ssembabule eggulo, Gen.Mugisha Muntu, yategeezezza nti azze afuna okwemulugunya okuva mu balimi n'Abalunzi ku ddagala ery'ebicupuli erisusse mu katale ensangi zino n'awera nti bw'atuula mu ntebe waakubimalawo.

Gen.Muntu,agambye nti Pulezidenti waakufuba okulaba ng’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'eddagala n'ebintu mu Ggwanga kikola omulimo gwakyo okulaba nga abalimi n'Abalunzi bafuna Eddagala ettuufu okusinga lwe bakozesa ery'ebicupuli ne bamaliriza nga ssente zaabwe zibafudde.

Yo mu tawuni y'e Mitete abatuuze,baalajanidde Gen. Muntu ku bubbi bw'eEddagala obususse mu malwaliro ga gavumenti mu  kitundu kyabwe ne bamusaba abataase era mu kwanukula, Gen.Mugisha Muntu, ategeezezza nti obubinja bw'abasawo ababba eddagala mu malwaliro ga gavumenti waakubusaanyawo mu nnaku 100 ezinaasoka ng'afuuse Pulezidenti wa Uganda.

Abaserikale baabadde bayimiridde ebbali abakuuma Muntu

Abaserikale baabadde bayimiridde ebbali abakuuma Muntu

Abatuuze b'e Ssembabule era baalajanidde Gen.Muntu ku kizibu ky'enguudo embi n'abagumya  nti byonna bw’atuula mu Ntebe agenda kubikolako.

Gen.Mugisha Muntu era,asinzidde Ssembabule n'alabula babbulooka b'Ettaka abeesomye okugobaganya Bannayuganda ku ttaka lyabwe nti bw'afuuka Pulezidenti baakwekaabira.

Wano Gen.Mugisha Muntu,asabye Bannayuganda okumussaamu obwesige bamulonde eggwanga alizze mu layini entuufu.

Tags:
Amawulire
Mugisha Muntu
Kufaafaagana