BYA David Sekayombya
Eyesimbyewo ku ky'omubaka wa palamenti owa Kampala Central ku bwa nnamunigina Abraham Luzzi agamba kyetaagisa okusitula ebisanyizo okwesimba ku kifo ky'omubaka wa palamenti.
Luzze agamba nti ayagala eby'enjigiriza bive ku S.6 bidde ku degree, omuntu nga azitowa okusukka akawumbi okudda wagulu mu ebyenfuna, nga atambudeko era nga tayagala bya insurance eri ababaka wadde okubagulira emmotoka era nga omubaka alina okuba omukugu mu mulimu gonna.
Ayongeddeko nti gamba azze kuweereza balonzi era bebafunamu nga bamulonze n'abasaba obutamusubira ku beguya nnyo wabula bakole ekyetaagisa