Amawulire

Abazigu bayingiridde omuwandiisi ku kakiiko k'ekyalo ne bamutta!

Abazigu bayingiridde omuwandiisi ku kakiiko ka  PDM mu muluka gw’e masooli ne bamutta omulambo gwe ne bugusuula mu ggalagi.

Abazigu bayingiridde omuwandiisi ku kakiiko k'ekyalo ne bamutta!
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

Abazigu bayingiridde omuwandiisi ku kakiiko ka  PDM mu muluka gw’e masooli ne bamutta omulambo gwe ne bugusuula mu ggalagi.

 

Ono abadde muwandiisi bukiiko busatu aka PDM, aka LCI ne LC II. Kigambibwa nti baasoose kuggyako main Switch  y’amasannyalaze olwo ne basala  eddinisa ly’emmanju ne bagwa mu kisenge ky’abaana.

 

Yagenze okuva ku mulimu yabasanzeemu. Abatuuze bagamba nti waliwo omusajja abadde akeeranga buli lunaku n’amuwa amata ng’ono yatuuse n’amuyita nga tamulaba n’agenda ne ku mulimu nga taliiyo. Wano we baalabidde eddinisa nga ssale emabega ne batemya ku LC eyayise poliisi.

 

Entiisa eno yagudde ku kyalo Masooli Kyambogo mu tawuni kkanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso bwe baayingiridde  Racheal Nakibuuka Ssebwana  38, abadde omuwandiisi ku kakiiko ka LC ng’ate abadde muwandiisi ku nteekateeka za PDM mu muluka gw’e Masooli.

 

Ono abadde  alina omudaala ogutunda ebintu eby’enjawulo e Masooli ng’okumutta yavudde ku mulimu ssaawa 2:00 ez’ekiro ku Ssande  ng’abatuuze okutemulwa kwe baategedde ku Mmande ekiro ssaawa biri.

 

Kenneth Nkonge, muganda w’omugenzi yategeezezza nti omugenzi,  bba Dr  Ssebwana yamwanjula oluvannyuma n’amukuba empeta wabula baafunamu obutakkaanya ne bawukana nga mu kiseera kino Nakibuuka abadde abeera yekka mu nju n’abaana nga bawumudde kuba babeera mu kisulo.

 

Yagasseeko nti emyezi etaano emabega, bba yali ayagala kutunda ekitundu ku ttaka n’asuubiza Nakibuuka okumugulira awalala amugulire n’ebisolo atandike okulunda wabula ettaka gye baamutwala teyalisiima.

 

Yayongeddeko nti abadde tamala nnaku ziwera nga tebogedde na mwannyina naye kyamwewuunyisizza okufuna amawulire nti bamusse.

 

Okusinziira ku baliraanwa mu kifo w’akolera  yava ku mulimu ssaawa 2:00 ez’ekiro ku ssande n’adda awaka kumbe abatemu baali baamwetegekedde dda!

 

Omulambo gwe gwasangiddwa mu galagi nga guli bwereere ng’emikono gyabadde gisibiddwa ka sikavu k’ateeka mu bulago.

 

Yagambye nti olugalo olumu ku mukono ogwa ddyo  lwabadde lulumiddwa ne ku mutwe kwabaddeko ekiwundu. Omugenzi waakuziiikibwa Butambala  Gombe ku kisaawe era alese abaana babiri.

 

Richard Kirumira Musisi, akulira ebyokwerinda ku kyalo Masooli Kyambogo yagambye  nti waliwo abatuuze abaabadde balina ebiwandiiko bye baabadde baagala abawandiikire baakubye ku ssimu ye nga teriiko.

 

Yagasseeko nti abatemu olwayingidde baasoose kuggyako Main Switch y’amasannyalaze ng’omulambo gwabadde ne katooki mu ngalo nga kirabika yabadde ageezaako kuzuula  lwaki amasannyalaze tegaabaddeko ng’ate awalala gaabadde kwegali .

Tags:
Kutta
Kakiiko
Muwandiisi