Kasalabecca

Ssanyu: Abeddira Enkima tuba tunyirira!

Ssanyu: Tracy Nicole Namuddu akubuuzaako.

Tracy Nicole Namuddu.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bbebi nkugulireyo ka ki ofune vayibu?
Weebale kunjiiyiza naye ebyo si bye byandeese.
Olwo okola ki mu bbaala nga tolina wadde kye weemiisa?
Sibuli ajja mu bbaala nti aba azze kunywa.
Kati jjangu tuzinemu babiri
Ye oba ani akunsindikidde.
Obukambwe nga bungi nnyo!
Anti ndaba onsomera ddiiru ezitankolera.
Kale mbuulira ky’okola wano nkusomere ddiiru ebaluka
Wano ndeetawo bayimbi bange okuyimba.

Namuddu

Namuddu


Ky’ogamba naawe oli mudongo
Ndi pulomoota w’abayimbi era
abamu ku bo kwe kuli; TamBoy Ug ne Scoop Larma
Maama pulomoota, mpa ku linnya lyo.
Nze Tracy Nicole Namuddu nga Nic Pandaz lye likola ssente. Omwana eyeddira Enkima,
Nsanyuse okukulaba.
Nange okukusanga. Ffe Abenkima tuba tunyirira buli kadde.
Olwo omwami waffe awulira atya ng’oli mu bbaala essaawa zino?
Ekyo kye nasooka okutereeza. Abasajja nasooka ne mbeewummuza kuba saagala kufuna muntu agenda kunnemesa kukola.
Eeee.. ky’ogamba ggwe oyagala otambule nga tewali musajja ky’akugambako.
Abasajja abamu bakiyitiriza, aba akimanyi nti ogenze kukola naye era n’akusibako akanyaaga. Nze ndi muntu mukulu mba nsobola okwekuuma.
Omusajja wandyagadde afaanana atya?
Asobola okuntegeera, alinamu ku ka ssente ate nga ssi mweru.
Kati nkusange ddi tunyumyeemu nga ssi bya mu bbaala?
Ekyo kiyinza obutasoboka kuba emisana, nnina gye nkolera awalala.
Olwo abakwagala bakufuna batya?
Essimu zajja, teri nsonga yonna ensisinkanya omuntu ng’asobola okunkubira essimu.
Kale mpa ku nnamba yo
Olina omulimu gw’ogenda okuwa abayimbi bange?
Nnyinza okubafunirayo ekicuba
Kale funa w’owandiika. Eri 07829…… Ate ono DJ akubye biki? Ka nkomewo
Tags:
Ssanyu
abeddira Enkima
tunyirira