Levixone asabye Desire Luzinda obufumbo ne balaga embaga mu August ono addako
Mwana mulenzi Sam Lucas Lubyogo, amayikiddwa ennyo nga Levixone yatadde yintaneeti yonna ku bunkenke bwe yasabye muyimbi munne, Desire Luzinda abangi gwe bategeera nga 'Woman of God' obufumbo, kyokka ababisala ne batandika okweyogeza mbu lwaki tawasizza Mitchelle muwala we!!
Luzinda Ne Levixone lwe baali bonna gye buvuddeko
Olugambo lubadde luyiting'ana ku mikutu emigattabantu nti ababiri bano baludde nga bali mu mukwano ogw'ekyama, kyokka nga tebavaayo kukyatulira bantu, okutuusa Levixone lwe yakikubyewo nga July 27, 2025.
Ng'asinziira ku mukutu gwe ogwa X, Levixone yataddeyo akatambi ke ng'asaba Desire obufumbo bw'atyo naye n'amukkiriza bawangaale bonna okutuusa okufa lwe kulibaawula!
“Ekyama kino nkiterekedde ebbanga ddene ku mutima gwange. Nasaba Katonda annung'amye n'ekigendererwa era n'ampa omwagalwa w'obulamu bwange. Yali awandiika olugero lw'obulamu bwange lye nnali siyinza kulaba, olujjudde ekisa, essanyu, n'ebyamagero. Mukwano gwange asingayo akkiriza okunfumbirwa - essaala yange eddiddwamu, ow'olubeerera, omukyala wa Katonda," Levixone bwe yawandiise ku mukutu gwe.
Bano baabalanze mu kkanisa ya Phaneroo ministries ku Ssande eggulo nga July 27 era embaga yaabwe egenda kubaawo mu August nga 15, 2025. TUbaagaliza birungi byereere.