Ekyabadde ku Serena mu kivvulu kya Isaiah Katumwa mu bifaananyi 10

ISAIAH Katumwa, ku wiikendi eyaakayita ku ssande yacamudde ebikonge ku Serena n’abaleka nga bamunyeenyeza mutwe nga embuzi etenda enkuba.

By Grace Namatovu
Journalists @New Vision
#Isaiah Katumwa #Mulere #Kufuuwa #Kivvulu #Serena

ISAIAH Katumwa, ku wiikendi eyaakayita ku ssande yacamudde ebikonge ku Serena n’abaleka nga bamunyeenyeza mutwe nga embuzi etenda enkuba.

Abacakaze nga banyumirwa endongo ya Jazz eya Isaiah Katumwa.

Katumwa yabadde mu kivvulu ng'ajaguza okuweza emyaka 30 ng'afuuwa omulere era ekivvulu kye kyategekeddwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde.

Omulere gwa Katumwa gwasitudde ebikonge mu gavumenti, ababede, abanene n'abawanvu bonna era bakira afuuwa omulere ng'eno bwe basituka mu butebe ne banyeenya ku galiba enjole.

Aba Afrigo Band ekulira Moses Matovu (ku ddyo) nabo baabaddeyo

Omulere tegwakomye ku kusitula sipiika wa Palamenti ya Uganda, Thomas Tayebwa ne mukyala we bokka, wabula gwasombye ne minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba, Miria Matembe, King Scissor, Jimmy Mugerwa n’abalala mu kivvulu.

Sipiika Tayebwa ne mukyala we (wakati) ssaako ebikonge ebirala nga banyumirwa

Akulira Vision Group, Don Wanyama ye yayanirizza abazze ku kivvulu kino ekyatandise ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi. Isaiah Katumwa, yabadde n’abafuuyi b’omulere abalala omwabadde; Mark Lang, Robert Aduba, Charmat Mushaga omusunyi wa ‘ggita’ n’abalala ate omuyimbi Naava Grey, Racheal Namubiru n’abalala be baayimbye naye ku siteegi.

Maama Miria Matembe Ng'anyumirwa Endongo Ya Katumwa.

Amyuka Akulira Vision Group, Gervase Ndyanabo (akuba Engalo) Ne Michael Mukasa Ssebowa Akulira Bukedde, Mu Kivvulu.

Okuva Ku Kkono; King Scissor, Mnisita Nabakooba, Sipiika Tayebwa Ne Mukyala We, Katumwa, Jimmy Mugerwa N'abalala.

Siteegi nga bwe yalabise nga yonna emyansa.

Kino kyabadde kivvulu kya mirere ddala!

Kino kyabadde kivvulu kya mirere ddala!

Essanyu nga libula okutta abanyumirwa Jazz ku Serena.

Michael Ouma omukubi w'endingidi nnakinku naye yabaddeyo ng'alaga obumanyi bwe