Kasalabecca

Cristiano Ronaldo acamudde Spice Diana e Saudi Arabia

CRISTIANO Ronaldo, musambi wa mupiira era y’omu ku basinga ettuttumu mu nsi yonna olw’okuwangula ebikopo mu ttiimu ez’enjawulo ne ku ttiimu y’eggwanga lye eya Portugal.

Cristiano Ronaldo acamudde Spice Diana e Saudi Arabia
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

CRISTIANO Ronaldo, musambi wa mupiira era y’omu ku basinga ettuttumu mu nsi yonna olw’okuwangula ebikopo mu ttiimu ez’enjawulo ne ku ttiimu y’eggwanga lye eya Portugal.

Omuyimbi waffe Spice Diana, yamuguddeko e Saudi Arabia, kata afe essanyu. Spice yabadde agenze okuyimbira abaayo era n’ayitirako ku kisaawe awaabadde ttiimu ya Ronaldo ng’ezannya.

Yakutte obutambi n’abussa ku mutimbagano wadde ate abawagizi ba Lionel Messi bwe baavuganyanga ne Ronaldo mu kuteeba ggoolo, baagayise maalo. Naye kyonna kye kiri, ye Spice yafunye omukisa, okulaba ku ssita w’omupiira layivu.

Tags:
Saudi
Arabi
ROnaldo
Cristiano