Wooteeri ya Serena mu Kampala yabuutikiddwa emizira n'essanyu ku Ssande eno, anti olwo ng'abanyumirwa omuziki gwa Jazz bazze mu bungi okuwagira Isaiah Katumwa, eyabadde ajaguza emyaka 30 bwe ddu, ng'akuba omuziki guno.
(Siteegi ya Fenono bwe yalabise)
Fenon events kasita yakikuttemu omukono mu kutegeka siteegi eyabaddeko amataala agaamyansizza nga emunnyeenye mu bwengula, olwo ne gujabagira! Ono tategese siteegi bitooke bye bigwa!
Sipiika Tayebwa bwe yabadde atuuka
Katumwa olwabadde okulinnya ku siteegi n'omuleere gwe, enduulu n'eraya mu bawagizi bwe era bwe yagukutte okugufuuwa, ekibiina ne kisaanuuka nga bwe kimuwaana n'okumusuuta olw'obumanyi bwe.
Abantu bazze mu bungi wooteeri n'ebooga okuviira ddala ku ntebe z'abakungu okutuuka ku bantu ssekinnoomu abaabulijjo, anti nga bonna banyeenya ku galiba enjole olw'omuziki ogwa Katumwa ogwa Jazz ogwabagasse awamu.
Katumwa ng'akola ky'asinga okumanya.
Katumwa yeegattiddwako abakubi b'ebivuga bannakinku n'abayimbi omwabadde, Charmant Mushanga, Michael Ouma, Afrigo band, Naava Grey, Racheal Namubiru,Langa n'abalala bangi abaafudde ekivvulu kino ekinyuvu.
Twabadde tukyali ku mumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa okunyumirwa omuziki ne mukyala we, ate ne zireeta eyaliko minisita w'empisa, Miria Matembe, ng'ono obwedda azina anyumirwa nga n'emikono kw'agitambuliza ng'alinga agamba nti abaafa bo baapapa bupapi!
Abamu ku bantu abaabaddeyo mu kivvulu nga basaanuuse.
Ku balala abaabaddeyo kwabaddeko Stephen Asiimwe (Private Sector Foundation Uganda), akulira ebyobulambuzi, Amos Wekesa, Jimmy D. Mugerwa (dfcu Group), John Musinguzi (URA), Don Wanyama (Vision Group), ow'ekitebe kya Bungereza mu Uganda Lisa Chesney ne Frederieke Quispel n'abalala bangi.
Mark Langa bw'afaanana.
Akulira Vision Group, Don Wanyama, Vision Group CEO, yasiimye abazze mu kivvulu n'abavujjirizi baakyo, okwabadde Johnny Walker, Tusker Malt, ne Coca-Cola olw'okumaakuma n'okukitutumula ne kiraba omukisa.
Abaaliyo mu kivvulu nga beekubya obufaananyi
Katumwa ng'amaliriza ekivvulu kino yasiimye abawagizi be olw'okujjuza Serena era n'ategeeza nti olunaku olwo tajja kulwerabira olw'ekyafaayo ekyakoleddwa.
Akulira Vision Group DOn Wannyama yasiimye abazze mu kivvulu
Siteegi erabika obulungi okuzaama eyategekeddwa aba Fenon.