Amawulire

SSABASUMBA w'Eklesia y'Abasodokisi Metropolitan Jeronymos Muzeeyi avumiridde ebikolwa by'abakuuma ddembe ebyalabise nga bakuba abakyala e Mbarara

SSABASUMBA w'Eklesia y'Abasodokisi mu ggwanga, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi avumiridde ebikolwa ebyalabise ng'abakuumaddembe bambula abakyala mu Kampeyini e Mbarara.   

Ssaabasumba Muzeeyi n'omukulembeze w'abavubuka Derrick Kavuma
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

SSABASUMBA w'Eklesia y'Abasodokisi mu ggwanga, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi avumiridde ebikolwa ebyalabise ng'abakuumaddembe bambula abakyala mu Kampeyini e Mbarara.

Metropolitan Muzeeyi agambye nti ebikolwa bino biraga nti ababikola tebabaamu mwoyo gwa Bwakatonda bwatyo n'asaba omuntu buli waali okusa ekitiibwa muntu Munne kubanga yatondebwa mu kifananyi Kya Katonda.

Okwogera bino yabadde mu nsisinkano n'abakulembeze b’abavubuka Buganda aba Buganda Youth Council nga yabadde Namungoona n'agamba nti Okuzimba eggwanga kyetaaga okwekwata Katonda.

Ssentebe w'abavubuka Derrick Kavuma ng'ayogera

Ssentebe w'abavubuka Derrick Kavuma ng'ayogera

Metropolitan Muzeeyi yeebazizza abavubuka bano olw'okukyalira Eklesia n'abawa amagezi nti mu byonna byebakola mu mirimu gyaabwe, basaanye okutambulira mu buufu bwa Katonda.

“Okwambula muntu muno obeera ovudde ku katonda. Sirowooza nti katonda w’abasiramu, Abakatuliki, Abapolotesitanti n’abalala nti kino akiyigiriza, tekiriyo, obeera ovudde ku katonda n’olwekyo okukuuma obuvubuka bwaffe, obulombolombo bwaffe, okukuuma eggwanga lyaffe n’emirembe, temuva ku Katonda,”

Ssaabasumba Mzee nga bali mu kifaananyi eky'awamu

Ssaabasumba Mzee nga bali mu kifaananyi eky'awamu

Ssentebe w'abavubuka mu Buganda, Derrick Kavuma yategeezeezza nga bwebaayagadde okuyunga abavubuka b'Obwakabaka ne Eklesia bwatyo n'akunga abavubuka Abasodokisi okwenyigira mu mirimu egikolebwa Obwabaka ne Uganda okutwalira awamu, basobola okufunamu obusobozi obutwala Eklesia mu maaso.

Ddiini wa Lutikko y’e Namungoona, Fr. Dr. Nicholas Bayego yasabye abavubuka bano okukozesa omukisa gwe balina nga bakyali bato, okwekulakulanya.

Avunanyizibwa ku by’eddiini ku lukiiko lw’abavubuka ku Lutikko e Namungoona, David Kabanda yeebazizza abavubuka ba Buganda olw'okujja okubakyalirako era n'asaba buli kiseera bakomewo okubawa ebirungi ebiva mu Bwakabaka.

Tags: