RT.Major.Gen.Mugisha Muntu agumizza abaali abakozi ba gavumenti kyokka nga tebafunanga kasiimo kaabwe nti bw'akwata obuyinza gavumenti ye yakubasasula.
Kino kiridde abaaliko abakozi ba gavumenti omubadde Abasomesa,Abasirikale n'abalala mu Disitulikiti y'e Soroti okulaajanira Gen.Muntu Kasiiko kaabwe nga bagamba nti batambudde kumpi bwoya kubaggwa ku Ntumbwe.

Mugisha Muntu Muntu ng'ayogera
Gen.Muntu asinzidde mu Tawuni ya Kanso ya Tubur mu Disitulikiti y'e Soroti n'ategeeza nti bonna ababanja akasiimo kaabwe bakukafuna amangu ddala ng'akutte obuyinza.
Mu ngeri y'emu Gen.Muntu agumizza Bannanyuganda nti obukulembeze bwe bwakuleeta enkulakulana eyanamaddala.
Mu kiseera kino Gen.Muntu akyagenda mu maaso n'okusaggula akalulu mu Disitulikiti y'e Soroti ne Serere