Amawulire

Poliisi e Wakiso, ezudde emmundu ng'esuuliddwa e Nkowe

Poliisi e Wakiso, ezudde emmundu ng'esuuliddwa e Nkowe mu muluka gw'e Kaliiti mu Ggombolola y'e Mmende e Wakiso. 

Poliisi e Wakiso, ezudde emmundu ng'esuuliddwa e Nkowe
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Wakiso, ezudde emmundu ng'esuuliddwa e Nkowe mu muluka gw'e Kaliiti mu Ggombolola y'e Mmende e Wakiso. 

Emmundu eno, agambibwa okuba eyomukuumi wa Fountain Security abadde akuuma Khan Resort, kampuni eyokya omuliro n'okukuba bulooka. 

Kidiridde abantu okubba ebyuma okuva mu kifo ekyo ne wire ne babulawo nabyo. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti basobodde okuzuula ebimu ku bibbe nti kyokka bebabisanze nabo, badduse ng'omuyiggo gugenda mu maaso. 

Agasseeko nti omukuumi, yaliba nga naye, yekobaanye n'ababbi

Tags: