Amawulire

Poliisi ye Kira Rd ekutte abagambibwa okutigomya abantu

POLIISI e Kira division mu Wakiso, ekutte abantu bana, abagambibwa okubeera ku kibinja ekirudde nga tigomya abatuuze mu kitundu ekyo.

Poliisi ye Kira Rd ekutte abagambibwa okutigomya abantu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI e Kira division mu Wakiso, ekutte abantu bana, abagambibwa okubeera ku kibinja ekirudde nga tigomya abatuuze mu kitundu ekyo.

Abakwatiddwa , kigambibwa nti era babasanze n'enjaga wamu n'ebiragala bye banywa nti olwo ne batulugunya abantu.

Mu ngeri y'emu era, poliisi e Nansana  ekutte Steven Sentamu nga kigambibwa nti y'omu ku baludde nga babba number plates okuva ku mmotoka z'abatuuze ku Yesu Amara n'emiriraano.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso , okufuuza abakyamu.

Tags: