Abaami Abakatoliki mu ssaza ekkulu ery’e Kampala bakungaanidde ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugongo okujaguza emyaka 20 bukya kibiina kyabwe kitongozebwa mu ssaza. Omukolo gwabaddewo ku Ssande (November 16, 2025).
Gw’akuliddwa akulira ennyumba y’ensirika eya Foyer de Charite, Namugongo, Msgr. John Waynand Katende. Missa y’agyisomedde wamu ne Faaza Denis Ssebuggwawo ow’e Namayumba, Fr. Anthony Musuubire, ne Fr. Godfrey Kawuki ow’e Nabbingo, era ng’ayemulyooyi w’emyoyo gy’abaami Abakatolikii mu ssaza.

Abaami Abakatuliki nga bali mu kifaananyi ekya wamu
Bweyabadde ayigiriza, Msgr. Katende yennyamidde olw’abaami abangi abeefudde bassemugayaavu, nebasuulawo amaka gaabwe, obuvunaanyizibwa bw’okugalabirira nebabukasukira bakyala baabwe.
Yategeezezza nti okuviira ddala mumasooka g’ensi, Katonda bweyali atonda omuntu, obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya amaka y’abukwasa musajja, era ng’eno y’ensonga lwaki kiba kikyamu ddala omusajja yenna okusuula obukulembezebwe mu maka.
“Tulabye amaka mangi nga maama y’afuuse taata, ate taata ng’afuuse bbebi alabirirwa obulabirirwa. Amaka agali mu mbeera eno tegayinza kutebenkera era n’eddiini teyinza kunnyikira mu baana kubanga bulijjo taata y’abeera omusomesa wa Katekisimu omukulu mu maka. Kisaanye abasajja okuddamu okweddiza obuvunaanyizibwa bwabwe mu famire zaabwe, amaka gasobople okutebenkera, ensi etereere, n’Eddiini etinte kubanga amaka bwegabeera obulungi, buli kintu kiba bulungi,” Munsennyooli Katende bweyategeezezza,

Ebikujjuko
Msgr. Katende y’asabye abaami Abakatoliki okutwala eky’okulabirako kya Yozefu Mukasa Balikuddembe gweyagambye nti yali mukulembeze ow’obuvunaanyizibwa, ow’amazima era eyali alemera kukituufu, era ngayatuuka n’okwatulira mukama we, Ssekabaka Mwanga ngabweyali akoze ekikyamu okutta Omulabirizi James Hannington.
Wabula y’anenyezza n’abakyala abamu abataputa obubi ensonga z’okwekulaakulanya kw’abakyala, nebateekawo embeera ey’embiranye w’akati w’abakyala n’abaami. Y’ategeezezza nti omwami n’emukyalawe nga bali mumaka gaabwe bateekwddwa kwagalana, kukolagana n’akubeeragana, basobole okuddukanya obulungi famire.
Ssentebe w’abaami Abakatoliki mu ssaza ekkulu ery’e Kampala, Dr. George William Ssekanjakko y’ategeezezza nti omwaka guno essira bagenda kulissa mukuteeka mu nkola ensonga eziri mu ppulaani namutayiika ey’ekibiina kyabwe, naddala okutuukiriza pulojekiti ez’okwekulaakulanya mu mwoyo nemumubiri.

Abaami Abakatuliki nga bayimba mmisa
Abaami abeetabye kumukolo guno baavudde mubigo byonna eby’essaza ekkulu ery’e Kampala. Abaami ab’omukigo ky’omu Ndeeba beebaakulembeddemu okuyimba mu mmisa.
Onmukolo gwetabiddwako abaneme bangi okwabadde Ssabakristu w’e Namugongo, John Nakedde, Kayima eyawummula Gabriel Kabonge, Ssabakristu w’essaza ekkulu ery’e Kampala eyawummula Ivan Kalanzi, n’omukulu Alex Birungi Kisembo eyavudde mukigo ky’e Ntinda