SIPIIKA wa palamenti Anita Among asiimye pulezidenti Museveni olw’eddembe n’obutebenkevu bwatadde mu ggwanga wamu n’okuwa obukuumi eri ensolo z’omunsiko naddala enkula nga zino zaali zasanyizibwawo mu myaka gye 80 olwabo abaziyigganga olw’amayembe gaazo.
Speake Anita Among ng'ali n'abakungu ba UWA
Bino abyogedde bwabadde asisinkanye abakugu okuva mu minisitule y’eby’obulambuzi nga bakulembeddwamu minisita omubeezi Martin Mugarra Bahinduka nga bali ku kawefube w’okulaba nga bakunganya obuwumbi 40 mu myaka 5 nga bayita mu kukuuma enkula amannya okulaba nga zifuna obukuumi obumala.
Sipiika agambye nti pulezidenti emirembe tajitadde ku bantu bokka wabula n’ebisolo ebisomba enkumu n’enkumu y’abalambuzi abagatta ku nsawo y’eggwanga era nga wano wasinzidde nategeeezza nti palamenti etuumyeyo enkula emu erinnya lya Kiira ku bukadde 35.
Speaker Anita Among ng'ali mu nsisinkano n'abakungu ba UWA
Minisita Mugara agambye nti kaweefube ono wakuyambako mu nsonga nnyingi nnyo n’okulaba nga enkula ezimu zitwalibwa mu Ajai mu West Nile okugaziya eby’obulambuzi.
Mukadde kano Uganda erina enkula 48 ezikuumibwa ku Ziwa Rhino Sanctuary mu disitulikiti y’e Nakasongola okuva kwezo 6 ezaleetebwa oluvanyuma lwezaaliwo okusanyizibwawo nga kati 17 ku zino zezetagiibwa okutumibwa