Aba St. Denis Ssebuggwawo e Konge banoonya obukadde 700 obugaziya Klezia

KLEZIA ya St. Denis Ssebuggwawo e Konge Lukuli eri mu konoonya ssente obukadde 700 okugula ettaka eddala  okusobola okugigaziya wamu  n'okukolerako pulojekiti y'eddwaliro n'amasomero.

Mmeeya Mulyannyama ng'asimbula abaddusi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Ng'omu ku kaweefube w'okunoonya ssente zino, bano basazeewo okudduka emisinde mubuna byalo n'ekigendererwa okusonderako ssente.

Emisinde gyasimbuddwa Mmeeya w'e Makindye, Ali Nganda Kasirye Mulyanyama okuva ku Klezia okwetoola ebitundu ebiriraanyeewo, kyokka nga baasoose kukola dduyiro.

Abamu ku bantu abajjanjabiddwa.

Abamu ku bantu abajjanjabiddwa.



Faaza John Baptist Ssemaganda, 'chaplain' w'abavubuka yagambye nti emisinde gino gye gikulembedde emikolo gy'okusonda ssente egigenda okubeerawo ku Ssande eno nga 14.

Faaza Ssemaganda yagambye nti Klezia tegenda kumenyebwa wabula okugigaziya wamu n'okugula etaka eribaliraanye nabo basobole okussaako eddwaliro n'amasomero ga Klezia.

Abaddusi nga bakola duyiro

Abaddusi nga bakola duyiro

Yategeezezza nti baayambiddwako ebitongole eby'enjawulo wamu ne bbanka ya Centenary okulaba nga batuukiriza ekiruubirirwa kyabwe.

Ssentebe w'olukiiko oluteekateeka omukolo, Charles Ssali yakunze abantu okubeegattako okusobola okulaba nga batwala omulimu gwa Katonda mu maaso., n'agamba nti baafuna looni okuva mu Centenary Bank nga kati sente ze balina okusasula ziweze obukadde 800.

Mmeeya Mulyannyama yakunze abantu okudduukirira omulimu gwa Mukama era n'abasaba bonna okubeerawo ku Ssande.

Faaza John Baptist Ssemaganda ng'ayogera ku pulojeti empya gye baatongozza

Faaza John Baptist Ssemaganda ng'ayogera ku pulojeti empya gye baatongozza