Akulira amaka n'abaana mu Poliisi awabudde ku busambattuko mu maka

Akulira ensonga z'amaka n'abaana mu poliisi, Maureen Atuhaire, akubirizza abasajja, bakyala baabwe bebatulugunya awaka akuloopa nga ku poliisi. 

Poliisi ng'esomesa ku butabanguko mu maka
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Akulira ensonga z'amaka n'abaana mu poliisi, Maureen Atuhaire, akubirizza abasajja, bakyala baabwe bebatulugunya awaka akuloopa nga ku poliisi. 

Agambye nti abasajja bangi, basirikidde okukubwa, okutulugunyizibwa, ensonga zokubamma omukwano awaka ne kibaviirako okutulugunyizibwa mu bwongo nga batya okuloopa ky'agambye nti kisaana okukomezebwa. 

Abantu ng bali mu musomo

Abantu ng bali mu musomo

Ategeezezza nti abamu ku baami bagamba nti baswala okuloopa abakyala olwo nebeekuumira mu mbeera y'okwennyamira. 

Abyogeredde ku mbuga y'e Ggombolola y'e Bunghokho e Mbale, bw'abadde mu musomo gw'okutabaganya poliisi n'omuntu wabulijjo mu kulwanyisa obuzzi bw'emisango. 

Alabudde abazadde, okuzaala abaana be basobola okulabirira so ssi kuzaalira nsi