OMUDUUMIZI w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashaija, akoze enkyukakyuka mu kitongole kino, mw'akyusirizza n'okuwa abamu ofiisi empya okuziddukanya.
Kino kikoleddwa olw'okwongera okutereeza empeereza y'ekitongole kino nga bakola bulungi emirimu gyabwe mu bukugu ate mu bulambulukufu.
Commissioner of Prisons { CP } Aliyo Natukunda ,alondeddwa okukola ng'akulira eby'amateeka n'eddembe ly'obuntu mu kitongole kino . CP Brenda Sana , asindikiddwa okukola nga akulira abakozi n'okuteekerateekera ekitongole.
Abalala kwe kuli ACP Robert Jolly Bamutura, asindikiddwa mu Estates and Engineering nga staff officer. SSP Ben Nyanzi Nicomedia Ahimbisibwe, ye O/C wa Division of pension . SSP Patrick William Awany y'amumyuka.
SSP Arthur Mugaba, asindikiddwa mu Farms nga Agricultural Engineer , SSP Ronald Mukwoli, kati ye DPC Kalungu, SSP Micheal Padde staff officer Bugiri n'abalala.
Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Frank Baine, agambye nti enkyukakyuka zino, zitandikiddewo okukola era nga abasindikiddwa mu ofiisi zino, basabiddwa okweyanjula mu bwangu.