ABANTU 3 bebaasunsuddwa okuvuganya ku kifo kya meeya wa munisipaali ye Kira mu kulonda kw’omwaka ogujja okwa 2026. Okusunsulwa kuno kubadde ku kitebe kya disitulikiti ye Wakiso eggulo (Mmande).
Julius Mutebi Nsubuga (PFF), Allan Dentine Bulamu (NRM) ne Haaj Norman Kaboggoza Ssemwanga (NUP) bebaasunsuddwa era ne bakakasibwa akakiiko k’ebyokulonda e Wakiso okuvuganya kubwa meeya e Kira.
Mutebi yategezezza nti yasazeewo okukomawo okwesimbawo kiyambe okwongera okulondoola enguudo Gavumenti zebawadde wansi wa Greater Kampala and metropolitan affairs.
“Twawebwa omukisa ne tugattibwa kwabo bebagenda okukolera enguudo, kino kiyinza kusoboka nga nze meeya aliko nze nsigadde nzirukanya pulojekiti eno kitangire ssente eziyinza okubulankanyizibwa.” Mutebi bweyayongeddeko.
Micheal Kabwama Mutebi atalina kibiina kwe yajjidde yasunsuddwa okuvuganya ku kifo ky’obwa meeya e Ntebe ng’ono yekkokkodde emivuyo egyali mu kamyufu ka NRM, kye yavudde asalawo okwesimbawo yekka.
Fabrice Rulinda owa NRM yasunsuddwa okuvuganya kukifo kya meeya we Ntebe ng’ayagala ekisanja eky’okubiri. Rulinda yawangula akalulu k’obwa meeya mu 2021 ku bwannamunigina oluvannyuma lw’okumuwangula mu kamyufu.
Yategezezza nti Ntebe okusomoozebwa kwe bakyalina kwa nguudo ezikyali mumbeera embi, nagamba nti wadde alina zakozeeko, asaba abalonzi baddemu bamwesige akole ezo ezikyawagamidde.
Yayongeddeko nti wakufuba okulaba ng’abavubuka abatalina mirimu babaako pulojekiti zebenyigiramu kitangire obumenyi bw’amateeka okweyongera.
Akulira eby’okulonda mu Wakiso Tolbert Musinguzi yagambye nti akakiiko kaataddewo ennaku 3 nga zino zebagenda okukozesa okuwandiisa abagala ebifo byobwa meeya ssaako bakkansala mu munisipaali ennya ezikola Wakiso.