Sipiika asambazze ebya Palamenti okukuubagana ne FDC ku by'okuziika Ogwal

PALAMENTI efulumizza enteekateeka z’okukungubagira abadde omubaka omukyala ow’e Dokolo Cecilia Ogwal

Sipiika asambazze ebya Palamenti okukuubagana ne FDC ku by'okuziika Ogwal
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Palamenti #FDC #Sipiika AMong #Cecilia Ogwal

PALAMENTI efulumizza enteekateeka z’okukungubagira abadde omubaka omukyala ow’e Dokolo Cecilia Ogwal, Sipiika Among n’ategeeza nti tewagenda kubaawo kusika muguwa ku kintu kyonna kubanga bamaze okukkaanya na buli muntu akwatibwako omugenzi.

Mu nteekateeka eyafulumiziddwa sipiika gye yasomedde bannamawulire akawungeezi k’eggulo, omubiri gw’omugenzi gwakutuuka ku kisaawe Entebbe ku Ssande nga 21 ku ssaawa 8:00 n’eddakiika 10 ez’omu ttuntu.

Sipiika Among N'abamu Ku Babaka Kwosa Ab'enganda Z'omugenzi Mu Lutuula Lwa Bannamawulire

Sipiika Among N'abamu Ku Babaka Kwosa Ab'enganda Z'omugenzi Mu Lutuula Lwa Bannamawulire

Ku Mmande nga January 22, omubiri gujja kuggyibwa mu maka ga Aplus ku ssaawa bbiri ez’oku makya guleetebwe ku palamenti ku ssaawa ssatu ababaka, emikwano n’abantu okugukubako eriiso evannyuma era wabeewo olutuula olw’enjawulo ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu oluvannyuma gutwalibwe mu maka ge e Bugolobi.

Ku lw’okubiri nga 23, omubiri gwakutwalibwa ku All Saints e Nakasero gy’abaggya omusabira ku ssaawa 3:00 oluvannyuma gutwalibwe e Dokolo mu Adok.

Ku Lwokusatu nga January 24, omubiri gwakutwalibwa ku kitebe kya disitulikiti y’e Dokolo ku ssaawa ssatu ez’oku makya mpaka ssaawa munaana ewanaabeera olutuula olw’enjawulo ate oluvannyuma gutwalibwe mu Lira.

Ku Lwokuna nga January 25, wajja kubaawo okusabira omugenzi ku St. Augustine Cathedral mu Bar Ogole e Lira ku ssaawa 3:00 ez’oku makya, oluvannyuma gutwalibwe ku St. Paul Church, Alito Archdeaconry mu Kole District era okumusabira ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo.

Wano gwakuggyibwawo gutwalibwe mu maka agali mu Dog Gudu Cell , Alito Town mu disitulikiti y’e Kole era abantu bamukubeko eriiso evvannyuma.

Ku Lwokutaano nga 26, wajja kubaawo okumusabira era muka ge mu Alito ku ssaawa 10:00 ez’oku makya ng’abantu bwe bamukubako eriiso evvannyuma.

Sipiika yagambye nti bamaze okukkaanya ne ffamire, ekibiina kya FDC kubanga omugenzi buvunaanyizibwa bwa palamenti mu kadde kano era nga tewali kigenda kutaataaganya nteekateeka eno.

Among agambye nti omugenzi waakuzikibwa ku Lwomukaaga nga January 27 e Kole kubanga eno ye wava omwami mwe papa Lamech Ogwal eyamuwasa mu bufumbo obutukuvu.