Sipiika Among awaddeyo obukadde 50 nga Namilyango College ekuza emyaka 121

Sipiika wa palamenti ya Uganda Anita Annet Among ng’ali n’omwami we ng’ono naye mubaka wa palamenti era Pulezidenti w’ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga (FUFA), Moses Magogo beegasse ku musumba w’essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza, abasomesa, abayizi n’abazadde ssaako abaasomerako ku ssomero lya Namilyango College okukuza emyaka 121 bukyanga litandikibwako abaminsani aba Mill Hill Fathers.

Sipiika Among ne bba Magogo nga bawaayo ebirabo eri Bp. Kakooza mu mmisa ng'essomero lya Namilyango College likuza emyaka 121 bukyanga litandikibwawo.
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision

Sipiika wa palamenti ya Uganda Anita Annet Among ng’ali n’omwami we ng’ono naye mubaka wa palamenti era Pulezidenti w’ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga (FUFA), Moses Magogo beegasse ku musumba w’essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza, abasomesa, abayizi n’abazadde ssaako abaasomerako ku ssomero lya Namilyango College okukuza emyaka 121 bukyanga litandikibwako abaminsani aba Mill Hill Fathers.

Emikolo gyatandise na kitambiro kya mmisa ekyakulwembeddwa Bp. Kakooza ku Ssande. Bp. Kakooza yasiimye abaminsani aba Mill Hill Fathers olw’okufuna okwolesebwa ne batandika essomero eritadde ettoffaali eddene ennyo ku kisaawe ky’eby’enjigiriza mu ggwanga, ng’erimu ku masomero agasinga obukulu ate eriri ku musingi ogwa waggulu.

Sipiika Among ne bba Moses Magogo nga bakulembeddemu oluseregende lw'abatwala okutona mu mmisa ku Namilyango College nga likuza emyaka 121 bukyanga litandikibwawo.

Sipiika Among ne bba Moses Magogo nga bakulembeddemu oluseregende lw'abatwala okutona mu mmisa ku Namilyango College nga likuza emyaka 121 bukyanga litandikibwawo.

Kakooza yakunze Bannayuganda okukozesa obudde obw’ekisiibo ekinaatera okuggwako okweteekerateekera akaseera ak’okufa nga bamanyi nti eriyo akadde ak’okuzuukira.

Sipiika Among yategeezezza nga gavumenti bw’eri obulindaala okulaba ng’eyamba ku masomero gaayo n’alabula abagakulira okwewala okwongeza ensimbi mu kiseera kino ng’abazadde baavu ensimbi zibeekubya mpi.

Ono era yalabudde amasomero ku muze ogw’abayizi okukyojjanya bannaabwe abapya gwe yagambye nti gwa bulabe nnyo nga tegukomya kukyaya bayizi kusoma kyokka wabula guviirako n’okufa.

Sipiika Among ne bba Magogo mu mmisa ku Namilyango College nga likuza emyaka 121 ku Ssande.

Sipiika Among ne bba Magogo mu mmisa ku Namilyango College nga likuza emyaka 121 ku Ssande.

Among yajulizza ekyali mu ssomero lya Kyamate S.S mu disitulikiti y’e Ntungamu abayizi gye baakumira omuliro ku kisulo omuyizi n’afiiramu gye buvuddeko.

Yagambye nti gavumenti tejja kulonzalonza kuggalawo masomero aganaasangibwamu omuze guno n’asaba abasomesa n’abakulira amasomero okulondoola ennyo abayizi embeera eyali e Kyamate ereme kuddamu kulabikira mu ssomero ddala lyonna.

Among yakuliddemu okusonda ensimbi ezaatandise ekibiina ekyabbuddwa mu yali omukulu w’essomero lino eyafa omwaka oguwedde, Peregrine Kibuuka nga kyatuumiddwa Namilyango College Peregrine Kibuuka Endowment Foundation nga kigenda kuyamba kukola ku bizibu eby’enjawulo ebiri mu ssomero omuli n’okudduukirira abaana abagezi ababa batalina bisale bya ssomero. Kiwomeddwamu omutwe abaasomerako mu ssomero lino aba Namilyango College Old Boys Association (NACOBA) n’olukiiko olufuzi olw’essomero.

Sipiika Among mu kifaananyi n’abamu ku bayizi b’essomero lya Namilyango College abeegasse ne bawaayo emitwalo 5 ng’akulembeddemu okusonda ssente z’essomero.

Sipiika Among mu kifaananyi n’abamu ku bayizi b’essomero lya Namilyango College abeegasse ne bawaayo emitwalo 5 ng’akulembeddemu okusonda ssente z’essomero.

Sipiika yawaddeyo ensimbi obukadde 50 ez’obuliwo olwo ate bba Magogo nga naye yasomera mu ssomero lino n’awaayo obukadde 5 ez’obuliwo ne yeeyama n’obukadde 10 ku lwa FUFA n’abasigadde ne bawa n’okweyama okusinziira ku busobozi bwabwe.

Among era yatongozza n’omulimu gw’okuzimba ekizimbe eky’emyaliiro esatu ekigenda okubeerako ebibiina ate ne woofiisi z’essomero nga kisuubirwa okuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi nga buna.

Omukulu w’essomero lino, Constantine Mpuuga yategeezezza nti emyaka 121 gye limaze mu nsiike y’eby’enjigiriza, lisomesezza Bannayuganda bangi nnyo ate ababadde mu bifo eby’enkizo ennyo omuli n’eyali Ssaabalamuzi Bart Magunda Katureebe, Norbert Mao, Ambassador Prof. Ssemakula Kiwanuka, Emmanuel Katongole owa Qaulity Chemicals, IGP Martin Okoth Ochola, eyali pulezidenti wa FUFA, Lawrence Mulindwa n’abalala.

Sipiika Among ng'ayogera mu kukuza emyaka 121 egy'essomero lya Namilyango College.

Sipiika Among ng'ayogera mu kukuza emyaka 121 egy'essomero lya Namilyango College.