Maama atabuse ne mutabani we lwakuleeta bawala mu nnyumba ne bamubuza otulo ng'akaboozi kakutte akati

MAAMA atabuse ne mutabani we era nga yemusika wa bba lwa kuleetanga abakazi mu nyumba era nti amaloboozi gaabwe trgamuganya kukomba ku mpeke ya tulo     

Maama nga bimusobedde
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision
MAAMA atabuse ne mutabani we era nga ye musika wa bba lwa kuleetanga abakazi mu nyumba era nti amaloboozi gaabwe tegamuganya kukomba ku mpeke ya tulo.
 
Mutabani agamba nti eddaame lya kitaabwe enyumba lyagimuwa wabula bannyina ne maama balina olukwe lw'okumulemesa okugibeeramu.
Omusika ng'annyonnyola

Omusika ng'annyonnyola

 
Omukadde Gonza Lovinsa nga ye nnamwandu wa George Ssentongo eyafa mu 1990 alumirizza mutabani we David Ssegawa okuleeta abakazi mu nyumba ne batiguka nga buli kimu kimugwa ku matu.
 
Bino okubaawo Ssegawa yeyaddukidde mu ofiisi ya Collins Kafeero ow'amaka n'eddembe ly'obuntu nga yemugulugunya ku ngeri nnyina ne Bannyina gye batambuza ebintu by'omugenzi kitaabwe era nga ebintu babitunze nga tebagoberera kiraamo.
 
Kafeero atuuzizza famire mu lukiiko ku kyalo Kotwe mu ggombolola y'e Nazigo olwetabiddwamu n'abataka nga bakulembeddwa ssentebe w'eggombolola Paul Ssemuju.
 
Bannyina Ssegawa okuli Nakafeero Annet ne Nampalanyi Anita nabo bagasse eddoboozi ku lya nyabwe ne bagugumbula mwanyina bwe era omusika Ssegawa okujooga omukadde.
Akulira ensonga z'amaka Collins Kafeero ng'atuuzizza Famire

Akulira ensonga z'amaka Collins Kafeero ng'atuuzizza Famire

Wabula Ssegawa yegaanyi ebyokuleeta abakazi mu nyumba omusula ne nyabwe n'agamba nti alina amakaage e Bulemeezi era mukazi we gy'abeera era enyumba ya kitaabwe ne wankubadde eddaame lyagimuwa egisulamu bbalirirwe nga azze okulima.
 
Kafeero abasomesezza ku mateeka agafuga ebyobusika era nti nnamwandu nga akyali mulamu ye nnanyini nyumba ate ne bwedda mu mikono gy'omusika gubeera musango okuyingizaamu omukazi.
 
Alagidde nti buli omu asooke adde mu mugabo gwe nga eddaame bwe limuwa n'ebyatundibwa mu bukyamu abaagula babyamuke.