Amawulire

Shincheonji Church of Jesus mu Uganda bagabye omusaayi

EKKANISA ya South Korea eya Shincheonji Church of Jesus, ekwataganye n’ettabi lyayo mu Uganda okukunga abantu naddala bammemba baayo ne bagaba omusaayi.

Shincheonji Church of Jesus mu Uganda bagabye omusaayi
By: Benjamin Ssebaggala, Journalists @New Vision

Enteekateeka eno yabaddewo ku Sande May 22, 2022 e Nansana mu Wakiso ne yeetabibwamu abantu 1,720 okuli Bammemba b’ekkanisa n’abatuuze.

Kaweefube baamutandikidde South Korea gyebuvuddeko bwe baazudde nga waliwo ebbula ly’omusaayi, sentebe w’ekkanisa eno Man-hee Lee n’akunga abagobererezi b’ekkanisa ne bagaba omusaayi okumala wiiki bbiri okuva April 18 okutuuka May 1.
Baatandise nga basuubira abantu 6,000 kyokka abeetabyemu baaweze 18,478 okuva mu bammemba b’ekkanisa abawera 27,026.

Olwamalirizza awo ne batandika kaweefube yoomu okukunga abantu okugaba omusaayi mu mawanga ag’enjawulo ekkanisa gy’erina amatabi nga ne Uganda mweri.

Christine Nakacwa  owa Shincheonji Jesus Church Uganda yagambye nti batambulira mu kisinde kya Yesu nga bwe yaweereza abantu abangi ng’ayiwa omusaayi okubafiirira era ng’Abajulizi bwe baayiwa omusaayi ku lw’ensi nabo webasinziira okugaba omusaayi okutaasa obulamu.

Abamu ku bammemba nga bagaba omusaayi

Abamu ku bammemba nga bagaba omusaayi

Bagamba nti bakoze kino kubanga Uganda yeemu ku mawanga agalimu abantu abangi abetaaga omusaayi okuli abakyala ab’embuto, abantu abalwala ne baggwamu omusaayi n’abaana abalwala omusaayi ne babasanga mu mbeera nga betaaga omusaayi.

Francis Mpaulo akiikiridde omugenyi omukulu yeebazizza aba Shincheonji Church of Jesus olw’okukunga bammemba babawe okuwaayo omusaayi okutaasa obulamu nti kiraga omutima omulungi eri abantu b’ekitundu n’eggwanga lyonna okutwalira awamu.

Samuel okuva mu kitongole ky’omusaayi (Uganda blood transfusion) yagambye nti amalwaliro mangi tegalina musaayi kyokka abantu batono abettanira okugugaba. 

Tags: