OMUBAKA omukazi owa Kampala, Shamim Malende asiibuddwa okuva mu ddwaaliro e Nsambya gy’abadde ajajjabirwa okumala emyezi esatu.
Obuvune bwava ku basajja abateeberezebwa okuba abaserikale ba SFC okumulumba ne banne ab’oludda oluvuganya Gavumenti mu kifo we baliira mu Palamenti
ne babakuba n’okubasikaasikanya.
Bino byaliwo omwaka oguwedde lwe baayisa etteeka eriggyawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’emmwaanyi.
George Mutebi, omu ku bajjanjaba Malende yategeezezza nti omubaka yakosebwa olukindo lw’abadde nalwo okuva lwe baamulongoosa mu lubuto gye buvuddeko
e Kenya era abadde avaamu omusaayi mungi okuva lwe baamutwala mu ddwaaliro