MUNNNAKIBIINA kya NRM Salim Uhuru Nsubuga azzeemu okwewandiisa n'akakasibwa avuganye ku bwa mmeeya bwa Kampala Central avuganye ekisanja eky’okubiri.
Abawagizi ba Uhuru nga bamuwerekera
Uhuru asimbudde mu makage e Mengo ku ssaawa 3:0 mu luseregende lw’e mmotoka ne pikipiki nga aweerekeddwako mukyala we n’abawagizibe ababadde baleekanira waggulu nga bagamba nti tukomezaawo omununnuzi w’e kibuga Kampala
Salim Uhuru ng'agenda okwewandiisa ne mukyala we
Yagambye nti mu bbanga ery’ekisanja ekimu kyokka kye yakamala mu Kampala asobodde okusaakira amasomero agaweera mu Kampala ebizimbe bya bibiina bina buli limu gattako okuperereza gavumenti okutandika okukola enguudo z’omu Kampala wakati.
Abawagiz ba Salim Uhuru nga bajanjawaza
“Ekirungi nnasobodde n’okuwangula okubeera omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Kampala ku lukiiko lwa CEC ng’ekifo kino kigenda kunyamba okumatiza Pulezidenti ne gavumenti yonna okutwaliza awamu okwongera ekitongole kya KCCA ku ssente za bajeti ejja olwo enguudo ne kalonda omulala ayongere okukolebwa mu Kampala” Uhuru bweyategezezza ng’amaze okwewandiisa okwabadde ku kitebbe ky’e by’okulonda ku Mawanda road mu Kampala.
Salim Uhuru ng'agenda okwewandiisa