Abasodokisi bajjukidde Ssaabasumba Yonah Lwanga

ABASODOKISI mu Uganda bajjukidde eyali Ssaabasumba w’Eklesia y’Abasodokisi, omugenzi Yonah Lwanga eyafa mu September 2021.

Ssaabasumba Jeronymos Muzeeyi (owookubiri ku ddyo), Bp. Byakatonda (wakati) ne Bp. Kabuye (owookubiri ku kkono) nga baganzika ekimuli ku ntaana y’omugenzi Yonah Lwanga (mu katono).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASODOKISI mu Uganda bajjukidde eyali Ssaabasumba w’Eklesia y’Abasodokisi, omugenzi Yonah Lwanga eyafa mu September 2021.

Mmisa y’okumujjukira yabadde kun Lutikko St. Nicholas e Namungoona  nga yakulembeddwaamu Ssaabasumba w’e Burundi ne Rwanda eyawummula, Innocentios Byakatonda, eyayogedde ku mugenzi ng’ataali musosoze eyayagala obwenkanya okutuuka ku buli muntu, ekintu kye yagambye nti, kiserebye nnyo mu bakulembeze naddala bannabyabufuzi.

“Waliwo obutambi obusaasaana ku mitimbagano nga bulaga Ssaabasumba waffe ono ng’aliko obubaka obuwabula Pulezidenti Museveni. Tekitegeeza nti, yali tamwagala, yali amwagala ng’omwana we mu Katonda ng’amulaga ebitatambudde bulungi,” Metropolitan Byakatonda bwe yagambye.

Mu kwogera kwe ku mukolo guno, Bisopu w’Abasodokisi atwala Gulu n’Obukiikakkono bwa Uganda, Bp. Nectarios Kabuye,  ayogedde ku mugenzi ng’omukulembeze eyali w’embala eyayagala ennyo abantu be n’amugeraageranya ku mulimi alabirira ennimiro ye buli kadde nga talinga abeenoonyeza ebyabwe be yayogeddeko ng’enjuki ezinoonya ebikolerere.
Ssaabasumba w’Eklesia y’Abasodokisi Metropolitan, Jeronymos Muzeeyi eyaddira Yonah
Lwanga mu bigere yatenderezza omugenzi olw’okukozesa obulungi obulamu bwe ku nsi.
Muzeeyi yagambye nti, buli muntu atondebwa ne misoni okuva eri Omutonzi n’asaba Abakkiriza okutwala eky’okulabirako kye nga batuukiriza ebyo ebyabatondesa