Abalondoola kampuni za zzaala nga bali wamu ne Poliisi bakoze ebikwekweto ne bayoola ebyuma bya zzaala e Jinja

POLIISI mu kibuga kye  Jinja nga eri wamu n'abekitongole kya National Lotteries and Gaming Regulatory Board bakoze ekikwekweto okwetoloola ekibuga  ne bayoola ebyuma bya zzaala byonna ebitalina lukusa byonna ne bitwalibwa.   

Ebimu ku byuma ebitwaliddwa
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

POLIISI mu kibuga kye  Jinja nga eri wamu n'abekitongole kya National Lotteries and Gaming Regulatory Board bakoze ekikwekweto okwetoloola ekibuga  ne bayoola ebyuma bya zzaala byonna ebitalina lukusa byonna ne bitwalibwa.
Mu kikwekweto kino ekikulembeddwamu akulira ebikwekweeto mu kitongole kino Stephen Tabaruka Bakironda batalaaze ebitundu eby'enjawulo mu  kibuga Jinja nga bafuuza buli ewali ebyuma bino era gyebiggweredde nga ebisoba mu 50 bikwatiddwa mu kikwekweto kino.

Ebimu ku byuma ebikwatiddwa

Ebimu ku byuma ebikwatiddwa


Tabaruka ategeezezza nga bayita mu kikwekweto kino ekyatuumiddwa ''Mashine Haramu'' bagenda kutalaaga ebitundu by'eggwanga eby'enjawulo okukakasa nga ebyuma bya zzaala byonna ebitali mu mateeka bikwaibwa.
Ategeezezza nti okuva ekikwekweto kino lwekyatandise baakakwata ebyuma ebisoba 6000 nga byonna bisangiwa banannyini babyo babikozesa mu bukyamu nga tebirina lukusa.  
Tabaruka agambye nti ekikwekweto kino kyakatandika era nga wekinaggwera nga byonna bigyiddwa mu bantu.
Yemulugunyizza ku byuma bino nti byettanirwa nnyo abaana abato ekitakkirizibwa mu mateeka ga gwanga.
Kyokka alambuludde ku ngeri ebimu ku byuma bino gyebikukusibwa okuyingizibwa mu ggwanga nga n'ebimu bireetebwa nga sipeeya wa komyuta kyokka bigenda okutuusibwa mu ggwanga nga byuma bya zzaala nga kino kisaana okwongera okwekenenyezebwa.
Asabye abo bonna abaagala okukola omulimu guno nga bizinensi babatuukirire nga ekitongole babasomese ku butya omulimu guno bwegukolebwa mu mateeka era bawebwe n'olukusa.

Ebyuma nga babitwala

Ebyuma nga babitwala


Ebyuma ebimu mu kitundu kino bisangiddwa nga byakagulibwa nga waliwo n'ebirala ebigangidwa lubona ku mmotoka nga bitambuzibwa nga byonna bino byakwatiddwa.
Abamu ku batuuze mu kitundu kino basanyukidde ekikwekweto ekikoleddwa nebategeeza nga n'abantu abamu bwebasuulirira obuvunaanyizibwa bwabwe olwo sente zonna nebazizza mu zzaala nga n'abaana bayiga obubbi okufuna sente zebazannyisa zzaala