Ruto alagidde poliisi okumenya amagulu g’abeekalakaasi

PULEZIDENTI wa Kenya William  Ruto ebintu abiggyeemu omuzannyo n’alagira poliisi okumenyaamenya amagulu g’abavubuka abakeera okwekalakaasa ku nguudo basobole okukendeeza ku ffujjo erisusse.

Omuserikale wa poliisi y’e Kenya ng’asikawo ebipiira, abeekalakaasi bye baakumyeko omuliro.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI wa Kenya William  Ruto ebintu abiggyeemu omuzannyo n’alagira poliisi okumenyaamenya amagulu g’abavubuka abakeera okwekalakaasa ku nguudo basobole okukendeeza ku ffujjo erisusse.
Abavubuka abeekalakaasa, abaakazibwako erya Generation Z, ennaku zino okwekalakaasa kwabwe baakwongeddemu ebirungo, ng’abaali balaga obutali
bumativu ku bbula ly’emirimu mu ggwanga n’okutyoboola eddembe y’obuntu, kati bagamba nti Gavumenti ya Ruto erina okugenda.
Kino Ruto yakiwakanyizzan’abawa amagezi nti balinde okulonda kwa 2027 balonde Pulezidenti gwe baagala, wabula ye tajja kukkiriza kuggyako Gavumenti mu bumenyi bw’amateeka.Okwekalakaasa okupya okwabaluseewo okwatuumiddwa Saba Saba,
nga kwatandise ku Mmande ya wiiki eno nga July ,2025, ku lunaku
Kenya kw’ejjukirira okwekalakaasa kkuulaamalungiokwaliwo nga Jul  ,1990, okwavaako Kenya okutandika olgendo lw’enfuga y’ebibiina ebingi.
Okusinziira ku Gavumenti, abantu 31 be battiddwa mu  kwekalakaasa kuno, abalala 100
ne bafuna ebisago eby’amaanyi, ate 532 ne bakwatibwa. Bwe yabadde ayogerako eri
eggwanga, Ruto yagambye nti kati ekiseera ky’okuzannya kiweddewo, era poliisi buli lw’eraba omwekalakaasi ng’asemberera bizinensi y’omuntu, yagiwadde ebiragiro okukuba amagulu egabetente, n’abalala balabireko nti kye bagezaako okukola kya bulabe.
Yatabukidde ab’oludda oluvuganya, b’alumiriza nti be bali emabega w’abekalakaasi bano, nga babateekamu ssente okukeera okukola effujjo, basobole okumuggya mu buyinzaPoliisi yagitenderezza olw’okutta abaabadde basusse okukola effujjo nga baagala na kuwamba mmundu za baserikale, n’agamba nti bw’olumba omuserikale obeera ogezaako kuwamba ggwanga, ekitakkirizibwa.
Eyali omumyuka wa Ruto, Rigathi Gachagua n’aggyibwamu obwesige, yagambye Ruto
  i teri ayagala kumuggya mubuyinza ku kifuba, wabula okwekalakaasa okugenda maaso kuvudde ku nsobi ze z’azze akola, naddala okwezza obuyinza obukola mu ofiisi ye, okubba ssente z’eggwanga nga teri amugambako, n’okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Okwekalakaasa kuno kwatandika omwezi oguwedde nga kuva ku bbulooga Albert Ojwang eyafiira mu kaduukulu ka poliisi mu ngeri etategeerekeka, ekyanyiiza abantu