Museveni agenda kwongera ssente za PDM mu bibuga

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okwongera ku bungi bwa ssente za Parish Development Model ezigabibwa mu bibuga awali abantu abangi basobole okwekulaakulanya.

Pulezidenti Museveni (ku ddyo) ng’alambula ekizimbe ky’Abasikawutu e Kaazi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okwongera ku bungi bwa ssente za Parish Development Model ezigabibwa mu bibuga awali abantu abangi basobole okwekulaakulanya.
Mu nkola eriwo, buli Muluka guweebwa obukadde 100 omwaka eziweebwa amaka 100
nga buli gamu gafuna akakadde kamu ze bateeka mu mirimu gy’okwekulaakulanya.
Pulezidenti yagambye nti eyo yali ntandikwa, kyokka ng’ekiseera kyonna agenda kuzongerako mu miruka gy’omu bibuga awali abantu nga si kya bwenkanya okubawa
ky’ekimu n’abali mu byalo  “Obukadde 100 yali ntandikwa era tugenda kuzongerako emiruka gy’omu bibuga gifune ssente ezeegasa zisobole okuyamba abantu bawera. Amagezi gembawa temukkiriza muntu yenna kubabuzaabuza,” Museveni bwe yagambye. Pulezidenti yabyogeredde ku kyalo Kaazi, ekisangibwa mu muluka we Busabala mu Makindye Ssaabagabo bwe yabadde alambula omulunzi Lillian Nagawa.
Nagawa yafuna akakadde kamu
mu April wa 2024 ze yagulamu embizzi ze yavaako nga zirumbiddwa ssennyiga n’adda mu kulunda enkoko. Mu kiseera kino alina enkoko 200 n’embuzi mukaaga. Ku lunaku lwa Idd lwokka,yagambye nti yakola amagoba ga 1,600,000/- okuva mu nkoko z’ennyama era ezimu ze yakozesa okwongera mu bulunzi bw’embuzi. Nagawa yagambye nti alina ekirooto kya kulunda enkoko 20,000 n’okwongera ku bungi bw’embuzi awamu n’ente kuba amanyi bulungi okuzirabirira. Abantu abanyooma
PDM yabasabye okukikomya kuba yajja kusitula mbeera za bamufunampola.
Museveni yatenderezza Nagawa
olwobukozi n’okukozesa obulungi ssente za PDM n’agamba nti kyakulabirako eri ababaddemu okubuusabuusa. “Muky. Nagawa nkuwadde obukadde 10 zikuyambe okwongera okwekulaakulanya era ng’enda kusindika abakugu bakuyambe okuzimba ekiyumba ky’okulundiramu ekyomulembe.
Abalala 12 abaaganyulwa mu PD  nammwe buli omu muwadde akakadde
kamu n’obukadde obulala 12 muzigulemu Tuk-tuk ya SACCO”Pulezidenti bwe yategeezezza.
Yalaze nti singa abantu bakozesa bulungi ssente ezibaweebwa obukadde 100 buli muluka, mu myaka etaano babeera bawezezza bukadde 800 ate mu myaka 10 babeera balina akawumbi kamu n’obukadde 600 mu muluka. Museveni yasabye abantu essira
okulissa ku nkulaakulana y’amaka kuba okubeera ne kolaasi mu kitundu tekimala kyokka okusitulam embeera z’abantu. Yalaze amakubo g’okufuna obugagga okuli; okuyita mu bulimi, emirimu gy’obuweereza, ebyamakolero
n’okuweesa. Nagawa yasiimye Pulezidenti olw’okutuuka wansi mu bantu n’amanya embeera mwe bakolera awamu n’okubawa obuyambi bw’ensimbi nga zibatuukako