Ekikangabwa kigudde mu zooni ya Nkere e Katwe mu Kampala, amasannyalaze bwe gakubye abafumbo babiri ne bafa.
Charles Ssenfuma ne mukazi we Tina Namayube, be bafudde oluvannyuma lw'amasannyalaze okubakuba.
Kigambibwa nti omukyala abadde ayanika ngoye kwe kukoona ku waya ne gamukuba wakati mu kulaajana, omwami naye agezezzaako okumuduukirira naye ne gamukuba.
Ssenfuma atwaliddwa mu ddwaaliro lya Lifeline Clinic gy'afiiridde ate Namayube n'atwalibwa e Kiruddu gye bakabatedde nti naye yabadde yafudde dda.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango agambye nti basuubira amasannyalaze gano okuba nga mabbirire