Omwana owomwaka ogumu, afiiridde mu muliro ate nnyina ne muganda we, ne baweebwa ebitanda nga bali bubi e Iganga.
Bino bibadde ku kyalo Biwabo mu Ggombolola y'e Bulamagi e Iganga, omuliro bwe gukutte a maka ga Micheal Londo omwana Stuart 1 n'afiiramu.
Nnyina Beth Mirembe 39 ne muwalawe Leticia Natooli ne batwalibwa mu ddwaaliro ng'embeera mbi olw'ebiwundu ebyamaanyi.
Kigambibwa nti Londo atunda mafuta ga petulooli mu bucupa era g'aliba nga gegavuddeko omuliro okukwata amangu ennyumba.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo, agambye nti Londo abadde mu nnimiro, omuliro wegukwatidde ennyumba nti era abatuuze we batuukidde okuguzikiriza, ng'omu ku baana, amaze okufa.